Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
6 verses
1Olituusa wa, ai Mukama, okunneerabiranga emirembe gyonna? Olituusa wa okunkisanga amaaso go?
2Ndituusa wa okuteesanga mu mmeeme yange, Nga ndaba ennaku mu mutima gwange obudde okuziba? Alituusa wa omulabe wange okugulumizibwanga ku nze?
3Lowooza onziremu, ai Mukama Katonda wange: Yakira amaaso gange, nneme okwebaka okufa;
4Omulabe wange alemenga okwogera nti Mmuwangudde: Abankyawa balemenga okujaguza nga nsagaasagana.
5Naye nneesize okusaasira kwo; Omutima gwange gunaasanyukiranga obulokozi bwo:
6Naayimbiranga Mukama, Kubanga ankoledde obulungi obungi.