Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Ettendo likulindirira, ai Katonda, mu Sayuuni: Era ggwe gwe banaatuukiririzanga obweyamo.
2Ai ggwe awulira okusaba, Bonna abalina omubiri balijja gy'oli.
3Ebitali bya butuukirivu binsinze: Okwonoona kwaffe olikunaaliza ddala.
4Alina omukisa oyo gw'olonda, era gw'osembeza gy'oli. Abeerenga mu mpya zo: Tunakkusibwanga obulungi obw'ennyumba yo, Awatukuvu mu yeekaalu yo.
5N'ebigambo eby'entiisa olituddamu mu butuukirivu, Ai Katonda ow'obulokozi bwaffe; Ggwe enkomerero zonna ez'ensi gwe zeesiga, N'abo abali ewala ku nnyanja:
6Oyo yanyweza ensozi n'amaanyi ge: Nga yeesiba obuyinza:
7Asirisa okuwuuma kw'ennyanja, Okuwuuma kw'amayengo gaayo, N'okuyoogaana kw'amawanga.
8Era n'abo abatuula ku nkomerero z'ensi batya olw'obubonero bwo: Ggwe osanyusa emiryango gy'enkya n'egy'akawungeezi.
9Okyalira ensi, n'ogifukirira, Ogigaggawaza nnyo; Omugga gwa Katonda gujjudde amazzi: Obalabira eŋŋaano, ng'omaze okulongoosa ensi bw'otyo.
10Ofukirira ensalosalo zaayo amazzi amangi; Olongoosa ebibibi byayo: Ogigonza n'oluwandaggirize; Okuwa omukisa okumera kwayo.
11Oteeka engule ku mwaka, bwe bulungi bwo; N'amakubo go gatonnyesa obugimu.
12Gatonnyesa mu malundiro ag'omu ddungu: N'obusozi bwesiba essanyu.
13Amalundiro gambala ebisibo; Era n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano: Byogerera waggulu olw'essanyu, era biyimba.