Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Leeta eddoboozi ery'essanyu eri Katonda, ensi yonna:
2Yimbira waggulu ekitiibwa eky'erinnya lye: Gulumiza ettendo lye libe n'ekitiibwa.
3Gamba Katonda nti Emirimu gyo nga gya ntiisa! Olw'obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemukira.
4Ensi yonna erikusinza, Erikuyimbira ggwe; Baliyimbira erinnya lyo. (Seera)
5Mujje mulabe emirimu gya Katonda; Ye w'entiisa mu by'akola eri abaana b'abantu.
6Ennyanja yagifuula olukalu: Baayita mu mugga n'ebigere: Awo we twamusanyukirira.
7Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna; Amaaso ge gatunuulira amawanga: Abajeemu balemenga okwegulumiza. (Seera)
8Kale, mmwe amawanga, mumwebazenga Katonda waffe, Muwulize eddoboozi erimutendereza:
9Akwatirira emmeeme yaffe obutafa, Era ataganya bigere byaffe okusagaasagana.
10Kubanga ggwe, ai Katonda, watugeza: Watukema nga bwe bakema effeeza.
11Watuyingiza mu kitimba; Wateeka omugugu omuzito ku biwato byaffe.
12Weebagaza abantu okulinnya ku mitwe gyaffe; Twayita mu muliro ne mu mazzi; Naye watuggyamu n'otuyingiza mu kifo eky'obugagga.
13Naayingira mu nnyumba yo n'ebiweebwayo ebyokebwa, Naakusasula obweyamo bwange,
14Emimwa gyange bwe gyayogera, N'akamwa kange bwe kaayatula, bwe nnalaba ennaku.
15Naakuwa ebyokwokya ebya ssava, N'ebyokwoteza eby'endiga eza seddume; Naawaayo ente n'embuzi. (Seera)
16Mujje muwulire, mwenna abatya Katonda, Nange ne mbuulira bye yakolera emmeeme yange.
17Namukoowoola n’akamwa kange, Era yatenderezebwa n'olulimi lwange.
18Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange, Mukama taawulire:
19Naye mazima Katonda awulidde; Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange.
20Katonda yeebazibwe, Atagobye kusaba kwange, so tannyimye kusaasira kwe.