Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
7 verses
1Katonda atusaasirenga, atuwenga omukisa. Atwakizenga amaaso ge; (Seera)
2Ekkubo lyo limanyibwenga mu nsi, Obulamu bwo obulokola bumanyibwenga mu mawanga gonna.
3Abantu bakutenderezenga, ai Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga.
4Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw'essanyu: Kubanga olisalira abantu emisango egy'ensonga, Era olifugira amawanga mu nsi. (Seera)
5Abantu bakutenderezenga, ai Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga,
6Ensi ereese ekyengera kyayo: Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
7Katonda anaatuwanga omukisa; N'enkomerero zonna ez'ensi zinaamutyanga.