Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
35 verses
1Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane; Era n'abo abamukyawa badduke mu maaso ge.
2Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo: Ng'envumbo bw'esaanuuka ku muliro, Ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda.
3Naye abatuukirivu basanyuke; bajagulize mu maaso ga Katonda: Weewaawo, bajaguze n'essanyu.
4Mumuyimbire Katonda, muyimbe okutendereza erinnya lye: Mumukubire oluguudo oyo eyeebagalira mu malungu; YA lye linnya lye; era mujagulize mu maaso ge.
5Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe, era asalira bannamwandu omusango, Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu.
6Katonda awa abawuulu ennyumba: Aggya abasibe (mu kkomera) okulaba ebirungi: Naye abajeemu batuula mu nsi ekaze.
7Ai Katonda, bwe wakulembera abantu bo, Bwe watambula mu ddungu; (Seera)
8Ensi n'ekankana, Eggulu ne ligwa mu maaso ga Katonda: Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri.
9Ggwe, ai Katonda, watonnyesa enkuba nnyingi, N'onyweza obusika bwo, bwe bwali nga bukooye.
10Ekibiina kyo kyatuula omwo: Ggwe, ai Katonda; wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo.
11Mukama yawa ekigambo: Abakazi ababuulira ebigambo lye ggye eringi.
12Bakabaka b'eggye badduka, badduka: Omukazi asigala eka ye agaba omunyago.
13Muligalamira mu bisibo by'endiga, Ng'ebiwaawaatiro by'ejjiba ebibikkibwako effeeza, N'ebyoya byalyo ebiriko ezaabu emmyufu?
14Omuyinza w'ebintu byonna bwe yasaasaanyiza omwo bakabaka, Kyali nga omuzira bwe gutonnya mu Zalumoni.
15Olusozi Basani lwe lusozi lwa Katonda; Olusozi Basani lwe lusozi oluwanvu.
16Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu, Olusozi Katonda lwe yayagala okulutuulako? Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna.
17Amagaali ga Mukama bwe bukumi obubiri, ze nkumi n’enkumi: Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu.
18Olinnye waggulu, osibye obusibe bwo; Oweereddwa ebirabo mu bantu, Era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo.
19Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. (Seera)
20Katonda ye Katonda ow'okuwonyanga gye tuli; Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa.
21Naye Katonda alifumita omutwe gw'abalabe be, N'obwezinge obuliko enviiri obwa buli muntu anyiikira okuzza omusango.
22Mukama yayogera nti Ndikomyawo okuva mu Basani, Ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja:
23Olyoke onnyike ekigere kyo mu musaayi, Olulimi lw'embwa zo lubeerenga n'omugabo gwalwo eri abalabe bo.
24Balabye bw'otambula, ai Katonda, Ggwe Katonda wange, Kabaka wange, bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu.
25Abayimbi bakulembedde, abakubi b'ennanga bagoberedde, Wakati mu bawala abakuba ebitaasa.
26Mwebalize Katonda mu bibiina, Ye Mukama, mmwe ab'oluzzi lwa Isiraeri.
27Waliwo Benyamini omuto abafuga, Waliwo abalangira ba Yuda n'abateesa nabo, Waliwo abalangira ba Zebbulooni, abalangira ba Nafutaali.
28Katonda wo alagidde amaanyi go: Onywezenga, ai Katonda, kye watukolera.
29Olwa yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi, Bakabaka kyebanaavanga bakuleetera ebirabo.
30Onenye ensolo ey'omu bitoogo, Ente ennyingi eza seddume, n'ennyana ez'amawanga, Ng'olinnyirira ebitundu eby'effeeza n'ebigere byo; Asaasaanyizza amawanga agasanyukira entalo.
31Abalangira baliva mu Misiri; Kuusi eryanguwa okugolola emikono gye eri Katonda.
32Muyimbire Katonda, mmwe amatwale g'ensi; Kale muyimbe okutendereza Mukama; (Seera)
33Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu, eryabaawo edda n'edda lyonna; Laba, ayogera n'eddoboozi lye, lye ddoboozi ery'amaanyi.
34Mumuwe Katonda amaanyi: Obulungi bwe bufuga Isiraeri, N'amaanyi ge gali mu ggulu.
35Ai Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu: Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be. Katonda yeebazibwe.