Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
36 verses
1Ndokola, ai Katonda; Kubanga amazzi gayingidde ne gatuuka ku mmeeme yange.
2Ntubira mu bitosi ebiwanvu awatali kuyimirira: Ntuuse mu buziba amazzi amangi we gampitirako.
3Okukaaba kwange kunkooyesezza; obulago bwange bukaze: Amaaso gange ganzibye nga nnindirira Katonda wange.
4Abankyayira obwereere basinga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi: Abaagala okunzikiriza, kubanga be balabe bange awatali nsonga, ba maanyi: Ne ndyoka nziza kye saabaggyaako.
5Ai Katonda, ggwe omanyi obusirusiru bwange: N'okwonoona kwange tekukisibwa ggwe.
6Abakulindirira ggwe balemenga okukwatibwa ensonyi ku lwange, ai Mukama Katonda ow'eggye: Abakunoonya ggwe balemenga okuswazibwa ku lwange, ai Katonda wa Isiraeri.
7Kubanga banvuma okunnanga ggwe; Ensonyi zibisse amaaso gange.
8Nfuuse munnaggwanga eri baganda bange, Era atali mumanyi eri abaana ba mmange.
9Kubanga obuggya obw'ennyumba yo bundidde; N'ebivume by'abo abakuvuma ggwe binguddeko.
10Bwe nnakaaba amaziga, emmeeme yange n'esiiba enjala, Ekyo kye kyanvumya.
11Bwe nnayambala ebibukutu, Ne mbafuukira eŋŋombo.
12Abatuula mu mulyango banjogerako, Era ndi luyimba lwa batamiivu.
13Naye nze, okusaba kwange kuli eri ggwe, ai Mukama, mu kiseera eky'okukkiririzaamu: Ai Katonda, mu kusaasira kwo okungi, Onziremu mu mazima ag'obulokozi bwo.
14Onnyinyulule mu bitosi, nneme okutubira: Ndokoke eri abo abankyawa ne mu mazzi ag'eddubi.
15Amazzi amangi galeme okumpangula, Newakubadde obuziba buleme okummira; Newakubadde obunnya buleme okunzibira akamwa kaabwo.
16Onziremu, ai Mukama; kubanga ekisa kyo kirungi: Ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, onkyukire.
17So tokisa amaaso go omuddu wo; Kubanga ndi mu nnaku; oyanguwe okunziramu.
18Osemberere emmeeme yange, oginunule: Ompe eddembe olw'abalabe bange.
19Ggwe omanyi bwe nvumibwa, bwe nkwatibwa ensonyi, bwe nnyoomebwa: Abalabe bange bonna bali mu maaso go.
20Okuvumibwa kumenye omutima gwange; era njijudde ennaku: Nnoonyezza anansaasira, naye tewabadde n'omu: Era abanansanyusa, naye ne siraba.
21Era bampa omususa okuba emmere yange; Era bwe nnalumibwa ennyonta ne bannywesa omwenge omukaatuufu,
22Emmeeza yaabwe eri mu maaso gaabwe ebeerenga ekyambika gye bali; Era bwe baba mu mirembe, gifuukenga omutego.
23Amaaso gaabwe gabenga mu kizikiza, baleme okulaba; Okankanyenga ebiwato byabwe ennaku zonna.
24Obafukengako ekiruyi kyo, N'obusungu bwo obukambwe bubatuukengako.
25Ennyumba yaabwe erekebwenga, So omuntu yenna alemenga okubeera mu weema zaabwe.
26Kubanga baayigganya oyo gw'okubye; Era boogera ku nnaku zaabo b'ofumise.
27Oyongerenga obubi ku bubi bwabwe: So balemenga okuyingira mu butuukirivu bwo.
28Basangulibwenga okuva mu kitabo ky'obulamu, So balemenga okuwandiikibwa awamu n'abatuukirivu.
29Naye nze ndi mwavu, munaku: Obulokozi bwo, ai Katonda, bungulumize waggulu.
30Naatenderezanga erinnya lya Katonda n'oluyimba, Naamugulumizanga n'okwebaza.
31Era ebyo binaasanyusanga Mukama okusinga ente, Ente erina amayembe n'ebinuulo.
32Abawombeefu bakirabye ne basanyuka: Mmwe abanoonya Katonda, omutima gwammwe gube omulamu.
33Kubanga Mukama awulira abaavu, So tanyooma basibe be.
34Eggulu n'ensi bimutenderezenga, Ennyanja ne byonna ebigitambuliramu.
35Kubanga Katonda alirokola Sayuuni, era alizimba ebibuga bya Yuda; Nabo balituula omwo, ne bagirya
36Era n'ezzadde ly'abaddu be baligisikira; N'abo abaagala erinnya lye balituula omwo.