Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
24 verses
1Ggwe, ai Mukama, ggwe nneesiga: Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna.
2Ondokole mu butuukirivu bwo, omponye: Ontegere okutu, ondokole.
3Obeerenga gye ndi olwazi olw'okutuulangako, we nnaayinzanga okweyuna bulijjo: Walagira okundokola; Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange.
4Omponye, ai Katonda wange, mu mukono gw'omubi, Mu mukono gw'omuntu atali mutuukirivu, omukambwe.
5Kubanga ggwe oli ssuubi lyange, ai Mukama Katonda: Ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange.
6Ggwe wampanirira okuva mu lubuto: Ggwe wanziya mu byenda bya mmange: Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna.
7Nninga ekitalo eri abantu abangi; Naye ggwe oli kiddukiro kyange eky'amaanyi.
8Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo, N'ekitiibwa kyo okuzibya obudde.
9Tonsuula mu biro eby'obukadde; Tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.
10Kubanga abalabe bange banjogerako; N'abo abateega emmeeme yange bateesa wamu,
11Nga boogera nti Katonda amulese: Mumugoberere mumukwate; kubanga tewali anaamuwonya.
12Ai Katonda, tombeera wala: Ai Katonda wange, yanguwa okunnyamba.
13Bakwatibwe ensonyi bazikirire abakyawa emmeeme yange; Baswazibwe banyoomebwe abaagala okunkola obubi.
14Naye naasuubiranga ennaku zonna, Era naayongeranga okukutenderezanga bulijjo.
15Akamwa kange kanaatenderanga obutuukirivu bwo, N'obulokozi bwo okuzibya obudde; Kubanga omuwendo gwabyo sigumanyi.
16Najjanga n'ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama Katonda: Naayogeranga ku butuukirivu bwo, ku bubwo bwokka.
17Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; Era okutuusa leero naabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo.
18Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.
19Era n'obutuukirivu bwo, ai Katonda, bugulumivu nnyo: Ggwe eyakola ebikulu, Ai Katonda, afaanana nga ggwe ani?
20Ggwe eyatulaga ebibonoobono ebingi ebizibu, Olituzuukiza nate, Era olitulinnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi.
21Oyongerenga ggwe obukulu bwange, Okyukenga nate onsanyuse.
22Era naakutenderezanga n'endere, Amazima go ge nnaatenderezanga, ai Katonda wange: Ggwe gwe nnaatenderezanga nga nnyimba mu nnanga, Ai ggwe Omutukuvu wa Isiraeri.
23Emimwa gyange ginaasanyukanga nnyo bwe nnaayimbanga okukutendereza; N'emmeeme yange gye wanunula.
24Era n'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde: Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi.