Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Owenga kabaka emisango gyo, ai Katonda Era owenga obutuukirivu bwo omwana wa kabaka.
2Anaasaliranga abantu bo emisango egy'obutuukirivu, N'abaavu bo egy'ensonga.
3Ensozi zinaaleeteranga abantu emirembe, N'obusozi, mu butuukirivu.
4Anaasaliranga omusango abaavu ab'omu bantu, Anaalokolanga abaana b'abo abatalina bintu, Era anaamenyaamenyanga omujoozi.
5Banaakutyanga ng'enjuba ekyaliwo, Era ng'omwezi gukyayaka, emirembe gyonna.
6Alikka ng'enkuba bw'etonnya ku ssubi erisaliddwa: Ng'empandaggirize ezifukirira ensi.
7Mu nnaku ze abatuukirivu banaalabanga omukisa, Era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo.
8Era anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, Era okuva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi.
9Abatuula mu ddungu balimufukaamirira; N'abalabe be balikomba enfuufu.
10Bakabaka b'e Talusiisi n'ab'oku Bizinga banaaleetanga ebirabo: Bakabaka w’e Syeba n'ab'e Seeba banaawangayo ebitone.
11Weewaawo, bakabaka bonna banaavuunamiranga mu maaso ge: Amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12Kubanga anaawonyanga omunafu bw'anaakaabanga: N'omwavu atalina mubeezi.
13Anaasaasiranga omwavu n'omunafu, N'emmeeme z'abanafu anaazirokolanga.
14Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n'ettima: N'omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge:
15Era banaabanga balamu; naye anaaweebwanga ku zaabu eye Syeba: Era abantu banaamusabiranga bulijjo; Banaamwebazanga okuzibya obudde.
16Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y'ensozi; Ebibala byayo binaayuuganga nga Lebanooni: N'ab'ekibuga banaameranga ng'omuddo ogw'oku nsi.
17Erinnya lye linaabeereranga emirembe gyonna; Erinnya lye linaalwangawo ng'enjuba: N'abantu banaalabanga omukisa mu ye; Amawanga gonna ganaamuyitanga wa Mukisa.
18Yeebazibwenga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri, Akola eby'amagero yekka:
19N'erinnya lye ery'ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna; Era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye. Amiina, era Amiina.
20Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kuwedde.