Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri, Eri abo abalina emitima emirongoofu.
2Naye nze, ebigere byange byali kumpi n'okugwa; Okutambula kwange kwabulako katono okuseerera.
3Kubanga ab'amalala bankwasa obuggya, Bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa.
4Kubanga bafa tebalumwangako: Naye amaanyi gaabwe ganywera.
5Tebalaba nnaku ng'abantu abalala; So tebabonyaabonyezebwa ng'abantu abalala:
6Amalala kyegava gabeera ng'omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe; Ettima libabikka ng'ekyambalo.
7Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu: Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala.
8Baduula ne boogera eby'okujooga mu bubi: Boogera ebikulu.
9Omumwa gwabwe bagutadde mu ggulu, N'olulimi lwabwe lutambulatambula mu nsi.
10Abantu be kyebava bakomawo wano: N'amazzi ag'omu kikompe ekijjudde ne bagamalirawo ddala.
11Era boogera nti Katonda amanya atya? Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo?
12Laba, abo be babi; Era beeyongera mu bugagga nga balina emirembe ennaku zonna.
13Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange, Ne nnaaba mu ngalo zange n'obutayonoona;
14Kubanga nabonyaabonyezebwa okuzibya obudde, Ne nkangavvulwa buli nkya.
15Singa nayogera nti Ka njogere bwe ntyo; Laba, nandikkusizza emirembe gy'abaana bo.
16Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo, Kyanteganya ne kinnema;
17Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda, Ne ndowooza ebibatuukako ku nkomerero.
18Mazima obateeka mu bifo eby'obuseerezi: Obasuulira ddala ne bazikirira.
19Nga bafuuse ekifulukwa mu kaseera akatono Entiisa zibamalirawo ddala.
20Ng'ekirooto bwe kiri aloose ng'azuukuse; Era bw'otyo naawe, ai Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe.
21Kubanga omutima gwange gwannuma, N'emmeeme yange yanfumita;
22Bwe nnali ng'ensolo bwe ntyo ne ssitegeera; Nali nsolo mu maaso go.
23Naye ndi wamu naawe ennaku zonna: Onkutte omukono gwange ogwa ddyo.
24Ononnuŋŋamyanga n'amagezi go, Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.
25Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe.
26Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.
27Kubanga, laba, abakuli ewala balizikirira: Wabafaafaaganya bonna abagenda okwenda ne bakuleka.
28Naye kirungi nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange, Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna.