Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Ai Katonda, kiki ekyatusuuza ennaku zonna? Kiki ekinyoosa obusungu bwo eri endiga ez'ettale lyo?
2Ojjukire ekibiina kyo kye wagula edda, Kye wanunula okuba ekika eky'obusika bwo; N'olusozi Sayuuni, lwe watuulangamu.
3Oyimuse ebigere byo ogende mu bifulukwa ebitavaawo, Obubi bwonna omulabe bwe yakola mu watukuvu.
4Abalabe bo bawulugumye wakati mu kibiina kyo; Basimbye ebendera zaabwe okuba obubonero.
5Bafaananye ng'abantu abayimusa Embazzi okutema ekisaka eky'omu kibira.
6Ne kaakano bamenyaamenya emirimu gyawo gyonna emyole N'embazzi n'ennyondo.
7Bookezza omuliro awatukuvu wo; Banyoomye ennyumba ey'erinnya lyo ne bagisuula wansi.
8Boogedde mu mitima gyabwe nti Tubazikiririze ddala bonna bonna: Bookerezza ddala amakuŋŋaaniro gonna aga Katonda mu nsi.
9Tetukyalaba bubonero bwaffe; Tewakyali nnabbi n'omu; So temuli n'omu mu ffe ategeera ebyo gye birituusa okubaawo.
10Ai Katonda, omulabe alituusa wa okuvuma? Akukyawa alivvoola erinnya lyo emirembe gyonna?
11Kiki ekikuddiriza omukono, omukono gwo ogwa ddyo? Oguggye mu kifuba kyo obazikirize.
12Naye Katonda ye Kabaka wange edda n'edda lyonna, Aleeta obulokozi wakati mu nsi.
13Wayawula ennyanja n'amaanyi go: Wamenya emitwe gy'ensolo mu mazzi.
14Wamenyaamenya emitwe gya lukwata, Wamuwa okuba emmere y'abo abatuula mu ddungu.
15Wasalamu ensulo n'omukka: Wakaza emigga eminene.
16Emisana gigyo, era n'ekiro kikyo: Wakola omusana n'enjuba.
17Wateekawo ensalo zonna ez'ensi: Wakola ekyeya ne ddumbi.
18Ojjukire kino ng'abalabe bavumye, ai Mukama, Era ng'eggwanga essirusiru liboggoledde erinnya lyo.
19Nkwegayiridde, towaayo emmeeme y'ejjiba lyo eri ensolo: Teweerabira bulamu obw'abaavu bo ennaku zonna.
20Ojjukire endagaano: Kubanga ebifo eby'enzikiza eby'ensi bijjudde ennyumba ez'ettima.
21Ajoogebwa alemenga okudda ng'akwatiddwa ensonyi, nkwegayiridde: Abaavu n'abanafu batenderezenga erinnya lyo.
22Golokoka, ai Katonda, weewolereze ensonga yo, Ojjukire omusirusiru bw'azibya obudde okukuvuma.
23Teweerabira ddoboozi lya balabe bo: Oluyoogaano lw'abo abakugolokokerako lulinnya bulijjo.