Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1Tukwebaza, ai Katonda; Twebaza kubanga erinnya lyo liri kumpi: Abantu boogera ku bikolwa byo eby'ekitalo.
2Bwe ndiraba ebiro ebyateekebwawo, Ndisala emisango egy'ensonga.
3Ensi n'abantu bonna abagituulamu biweddewo: Nze nsimbye empagi zaayo. (Seera)
4Nagamba ab'ekyejo nti Temugiranga kyejo: N'ababi nti Temuyimusanga jjembe:
5Temuyimusanga waggulu jjembe lyammwe Temwogeranga n'ensingo enkakanyavu.
6Kubanga okugulumizibwa tekuva buvanjuba, Newakubadde ebugwanjuba, newakubadde obukiika obwa ddyo.
7Naye Katonda ye mulamuzi: Atoowaza ono, n'oli amugulumiza.
8Kubanga mu mukono gwa Mukama ekikompe mwekiri, n'omwenge gwamu guliko ejjovu; Kijjudde ogutabuddwamu, n'akifuka; Mazima ebbonda lyagwo ababi bonna ab'ensi balirikutamira, balirinywa.
9Naye nze naabuuliranga emirembe gyonna, Naayimbanga okutendereza Katonda wa Yakobo.
10Era n'amayembe gonna ag'ababi naagazikirizanga; Naye amayembe g'abatuukirivu ganaagulumizibwanga.