Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Mu Yuda Katonda amanyibwa: Erinnya lye kkulu mu Isiraeri.
2Era mu Salemi eweema ye mweri, N'ekifo kye ky'atuulamu mu Sayuuni.
3Eyo gye yamenyera obusaale obw'omutego, Engabo, n'ekitala, n'olutalo. (Seera
4Oli wa kitiibwa, osinga, okuva ku nsozi ez'omunyago.
5Ab'emitima emizira banyagiddwa, beebase mu tulo twabwe; So mu bantu ab'amaanyi temuli abalabye emikono gyabwe.
6Ggwe onenyezza, ggwe Katonda wa Yakobo, Eggaali era n'embalaasi n'ebyebasibwa otulo otw'okufa.
7Ggwe, ggwe ogwanira okutiibwa: Era ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng'omaze okusunguwala?
8Wawuliza omusango nga guvudde mu ggulu; Ensi n'etya, n'esirika;
9Katonda bwe yagolokoka okusala omusango, Okulokola abawombeefu bonna abali mu nsi. (Seera)
10Mazima obusungu bw'abantu bulikutendereza: Obusungu obulisigalawo olibwesiba.
11Mweyame obweyamo, musasule Mukama Katonda wammwe: Bonna abamwetoolodde baleetere ebirabo oyo agwanira okutiibwa.
12Alizikiriza omwoyo gw'abalangira: Ye w'entiisa eri bakabaka b'ensi.