Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Naakabiranga Katonda n'eddoboozi lyange; Eri Katonda n'eddoboozi lyange, naye anampuliranga.
2Ku lunaku olw'okunakuwala kwange nanoonya Mukama; Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira; Emmeeme yange n'egaana okusanyusibwa.
3Njijukira Katonda, ne nneeraliikirira: Neemulugunya, omwoyo gwange ne guzirika. (Seera)
4Okwata ku maaso gange nga gatunula: Ntegana bwe nti n'okuyinza ne ssiyinza kwogera.
5Ndowoozezza ennaku ez'edda, Emyaka egy'ebiro eby'edda.
6Njijukira oluyimba lwange ekiro Ne nteesa ebigambo n'omutima gwange nzekka; N'omwoyo gwange gwanoonyeza ddala.
7Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna? Era anaaba nga takyalina kisa nate?
8Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna? Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n'emirembe?
9Katonda yeerabidde okuba n'ekisa? Asibye okusaasira kwe okulungi mu busungu? (Seera)
10Nange ne njogera nti Obwo bwe bunafu bwange; Naye najjukiranga emyaka egy'omukono ogwa ddyo gw'oyo ali waggulu ennyo.
11Naayogeranga ku bikolwa bya Mukama; Kubanga najjukiranga eby'ekitalo byo eby'edda.
12Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna, Era naafumiitirizanga ebikolwa byo.
13Ekkubo lyo, ai Katonda, liri mu watukuvu: Katonda omukulu, ali nga Katonda, ye ani?
14Ggwe Katonda akola eby'amagero: Wamanyisa amaanyi go mu mawanga.
15Wanunula abantu bo n'omukono gwo, Abaana ba Yakobo ne Yusufu. (Seera)
16Amazzi gaakulaba, ai Katonda; Amazzi gaakulaba, ne gatya: Era n'obuziba ne bukankana.
17Ebire ne bitonnya amazzi; Eggulu ne lireeta eddoboozi : Era n'obusaale bwo ne bubuna.
18Eddoboozi ery'okubwatuka kwo ne liba mu kikuŋŋunta; Okumyansa ne kumulisa ebintu byonna: Ensi n'ekankana n'eyuuguuma.
19Ekkubo lyo lyali mu nnyanja. N'empenda zo zaali mu mazzi amangi. N'ebigere byo tebyamanyika.
20Waluŋŋamyanga abantu bo ng'endiga, Mu mukono gwa Musa ne Alooni.