Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
72 verses
1Muwulire, mmwe abantu bange, okulagira kwange: Mutege amatu gammwe eri ebigambo eby'akamwa kange.
2Naayasama akamwa kange mu lugero: Naayogera ebigambo eby'ekyama eby'edda:
3Bye twawuliranga, bye twamanyanga, Era bajjajjaffe bye baatubuuliranga.
4Tetuubikisenga baana baabwe, Nga tubuulira emirembe egijja amatendo ga Mukama, N'amaanyi ge, n'eby'amagero bye bye yakola.
5Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo, Era yalagira etteeka mu Isiraeri, Lye yakuutira bajjajjaffe, Babitegeezenga abaana baabwe:
6Emirembe egijja gibimanye, be baana abaali bagenda okuzaalibwa; Abaali bagenda okugolokoka n'okubibuulira abaana baabwe:
7Balyoke basuubirenga Katonda, So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda, Naye bakwatenga amateeka ge:
8So balemenga okuba nga bajjajjaabwe, Emirembe emikakanyavu, emijeemu; Emirembe egitalongoosa bulungi omutima gwagyo, N'omwoyo gwagyo nga tegunywera eri Katonda.
9Abaana ba Efulayimu, nga balina ebyokulwanyisa n'emitego, Ne bakyuka ennyuma ku lunaku olw'olutalo.
10Tebaakwata ndagaano ya Katonda, Ne bagaana okutambulira mu mateeka ge;
11Ne beerabira ebikolwa bye, N'eby'amagero bye bye yabalaga.
12Yakolera eby'ekitalo mu maaso ga bajjajjaabwe, Mu nsi y'e Misiri, mu nnimiro ya Zowaani.
13Yayasa mu nnyanja, n'abayisa wakati; N'ayimiriza amazzi ng'entuumo.
14Era emisana yabakulemberanga n'ekire, N'ekiro kyonna n'omumuli ogw'omuliro.
15Yayasa amayinja mu ddungu, N'abanywesa amazzi amangi nga gava mu buziba.
16Era yaviisa ensulo mu jjinja, N'akulukusa amazzi ng'emigga.
17Naye ne banyiikira nate okumwonoona, Okujeemera oyo ali waggulu ennyo mu ddungu.
18Ne bakema Katonda mu mutima gwabwe Nga basaba emmere olw'okwegomba kwabwe.
19Era naye baayogera obubi ku Katonda; Baagamba nti Katonda ayinza okuteekateeka emmeeza mu ddungu?
20Laba, yakuba ejjinja amazzi ne gatiiriika, Emigga ne gikulukuta; Era ayinza okuwa n'omugaati? Alirabira ennyama abantu be?
21Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala: Omuliro ne gwaka ku Yakobo, Era n'obusungu ne bunyooka ku Isiraeri:
22Kubanga tebakkiriza Katonda, So tebeesiga bulokozi bwe.
23Naye n'alagira eggulu waggulu, N'aggulawo enzigi ez'omu ggulu;
24N'abatonnyesezanga maanu okulya, N'abawanga emmere ey'omu ggulu.
25Abantu ne balyanga emmere ey'abakulu: Yabaweerezanga ebyokulya n'abakkusa.
26N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu: Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiika obwa ddyo.
27Era n'abatonnyeseza ennyama ng'enfuufu, N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja:
28N'abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe, Okwetooloola ennyumba zaabwe.
29Awo ne balya, ne bakkuta nnyo; N'abawa kye baali beegomba.
30Baali nga tebannayawukana n'okwegomba kwabwe, Emmere yaabwe yali ng'ekyali mu bumwa bwabwe,
31Obusungu bwa Katonda ne bulinnya ku bo, Ne bubattamu abasinga obunene, Ne buzikiriza abavubuka ba Isiraeri.
32Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne boonoona nate, Ne batakkiriza bya magero bye.
33Kyeyava amalawo ennaku zaabwe okuzifuula obutaliimu, N'emyaka gyabwe mu kutya.
34Bwe yabatta, bwe baabuuzabuuza okumunoonya: Ne bakomawo ne bakeeranga okunoonya Katonda.
35Ne bajjukira nga Katonda lwe lwazi lwabwe, Era nga Katonda ali waggulu ennyo ye yabanunula.
36Naye baamunyumiriza na kamwa kaabwe, Ne bamulimbalimba n'olulimi lwabwe.
37Kubanga omutima gwabwe tegwalongooka gy'ali, So tebaali beesigwa mu ndagaano ye.
38Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atazikiriza: Weewaawo, emirundi emingi yabayisaako obusungu bwe, N'atakubiriza busungu bwe bwonna.
39Naye n'ajjukira nga bo mubiri bubiri; Empewo eziyita ne zitadda nate.
40Emirundi nga mingi gye baakamujeemera mu ddungu, Ne bamunakuwaliza mu lukoola!
41Ne bakyuka nate ne bakema Katonda, Ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.
42Tebajjukira mukono gwe, Newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe.
43Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri, N'eby'amagero bye mu nnimiro ya Zowaani;
44N'afuula emigga gyabwe omusaayi, N'enzizi zaabwe ne batayinza kunywa.
45N'atuma mu bo ebitole by'ensowera, ezaabaluma; N'ebikere, ebyabazikiriza.
46Era n'awa obuwuka ekyengera kyabwe, N'emirimu gyabwe eri enzige.
47N'atta emizabbibu gyabwe n'omuzira, N'emisukomooli gyabwe n'empeke ennene ez'omuzira.
48Yawaayo n'ente zaabwe eri omuzira, N'endiga zaabwe eri enjota ezaaka.
49Yabakasukako obusungu bwe obukambwe, N'okunyiiga, n'okunyiikaala, n'okunakuwala, Ekibiina kya bamalayika abaleeta obubi.
50Yakubira obusungu bwe ekkubo, Teyasaasira mmeeme zaabwe okufa, Naye n'awaayo obulamu bwabwe eri olumbe;
51N'akuba ababereberye bonna abaali mu Misiri, Abaasinga amaanyi mu weema za Kaamu:
52Naye n'aggyamu abantu be ye ng'endiga, N'abaluŋŋamiza mu ddungu ng'ekisibo.
53N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya: Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe.
54N'abaleeta ku nsalo ey'awatukuvu we, Ku lusozi luno omukono gwe ogwa ddyo lwe gwagula.
55Era n'agobamu amawanga mu maaso gaabwe, N'agabawa okuba obusika ng'abagerera, N'atuuza ebika bya Isiraeri mu weema zaago.
56Naye ne bakema Katonda ali waggulu ennyo ne bamujeemera, Ne batakwata bye yategeeza;
57Naye ne bakyuka ennyuma ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe: Ne bakyama ng'omutego ogw'obulimba.
58Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi Ne bamukwasanga obuggya n'ebifaananyi byabwe ebyole.
59Katonda bwe yawulira bw'atyo n'asunguwala, N'atamwa nnyo Isiraeri:
60N'afuluka mu weema ey'omu Siiro, Eweema gye yali ateese mu bantu;
61N'awaayo amaanyi ge mu busibe, N'ekitiibwa kye mu mukono gw'omulabe.
62Era n'agabula abantu be eri ekitala; N'asunguwalira obusika bwe:
63Omuliro ne gulya abavubuka baabwe; N'abawala baabwe ne bataba na luyimba lwa kufumbirwa.
64Bakabona baabwe ne bafa ekitala; Ne bannamwandu baabwe ne batakuba biwoobe.
65Mukama n'alyoka azuukuka ng'azuukuka mu tulo, Ng'omuzira ayogerera waggulu ng'anywedde omwenge.
66N'akuba abalabe be ne baddayo ennyuma: N'abakwasa ensonyi ezitaggwaawo.
67Era n'agaana eweema ya Yusufu, N'atalonda kika kya Efulayimu;
68Naye n'alonda ekika kya Yuda, Olusozi Sayuuni lwe yayagala.
69N'azimba awatukuvu we okufaanana ng'ensozi, Ng'ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70Era n'alonda Dawudi omuddu we, N'amuggya mu bisibo by'endiga:
71Mu kugoberera endiga eziyonsa mwe yamuggya, Okulundanga Yakobo be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe.
72Awo n'abalundanga mu butuukirivu obw'omutima gwe; N'abaluŋŋamyanga n'amagezi g'emikono gye.