Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Ai Katonda, amawanga gazze mu busika bwo; Boonoonye yeekaalu yo entukuvu; Basudde Yerusaalemi entuumo n'entuumo.
2Emirambo gy'abaddu bo bagiwaddeyo okuba emmere y'ennyonyi eza waggulu, Emibiri gy'abatukuvu bo eri ensolo z'oku nsi.
3Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi: Ne wataba muntu wa kubaziika.
4Tufuuse ekivume eri baliraanwa baffe, Okuduulirwa n'okusekererwa eri abo abatwetoolodde.
5Ai Mukama, olituusa wa okusunguwala emirembe gyonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng'omuliro?
6Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.
7Kubanga balidde Yakobo, Ne bazisa ekifo kye.
8Tojjukira gye tuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe: Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga: Kubanga tujeezebwa nnyo.
9Otuyambe, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo: Era otuwonye, onaalize ddala ebibi byaffe, olw'erinnya lyo.
10Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa? Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika, Limanyibwe mu b'amawanga mu maaso gaffe.
11Okusinda kw'omusibe kujje mu maaso go; Ng'obuyinza bwo bwe buli obungi owonye abo abateekerwawo okufa;
12Era owalane baliraanwa baffe emirundi musanvu mu kifuba kyabwe Ekivume kye baakuvuma ggwe, ai Mukama.
13Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo Tunaakwebazanga ennaku zonna: Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna.