Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
19 verses
1Ai Omusumba wa Isiraeri, wulira, Ggwe aluŋŋamya Yusufu ng'ekisibo; Ggwe atuula wakati wa bakerubi, yakira ddala.
2Mu maaso ga Efulayimu ne Benyamini ne Manase, kubiriza amaanyi go, Ojje otulokole.
3Otukyuse nate, ai Katonda; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
4Ai Mukama Katonda ow'eggye, Olituusa wa okusunguwalira okusaba kw'abantu bo?
5Wabaliisa emmere ey'amaziga, Era wabawa amaziga amangi okunywa.
6Otufuula oluyombo eri baliraanwa baffe: N'abalabe baffe baseka bokka na bokka.
7Otukyuse nate, ai Katonda ow'eggye; Era oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
8Waggya omuzabbibu mu Misiri: Wagobamu amawanga, n'ogusimba.
9Wasaawa mu maaso gaagwo, Ne gusimba nnyo emmizi, ne gujjula ensi.
10Ensozi ne zibikkibwa n'ekisiikirize kyagwo, N'amatabi gaagwo ne gaba ng'emivule gya Katonda.
11Gwaloka amatabi gaagwo okutuusa ku nnyanja N'ensibuko zaagwo okutuusa ku Mugga.
12Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo, Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako?
13Embizzi eva mu kibira egunyaga, N'ensolo ez'omu nsiko zigulyako.
14Okyuke nate, tukwegayiridde, ai Katonda ow'eggye: Otunuulire wansi ng'oyima mu ggulu, olabe, ojjire omuzabbibu ogwo.
15N'ekikolo omukono gwo ogwa ddyo kye gwasimba, N'ettabi lye weekolera ery'amaanyi.
16Gwokeddwa omuliro, gutemeddwa ddala: Bazikirira amaaso go bwe gabanenya.
17Omukono gwo gube ku musajja ow'omukono gwo ogwa ddyo, Ku mwana w'omuntu gwe weekolera ow'amaanyi.
18Naffe tetulidda nnyuma okukuleka: Otuzuukize ggwe, naffe tunaakaabiranga erinnya lyo.
19Otukyuse, nate, ai Mukama Katonda ow'eggye; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.