Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
16 verses
1Muyimbirenga waggulu Katonda amaanyi gaffe: Muleetenga eddoboozi ery'essanyu eri Katonda wa Yakobo.
2Mwanukulenga oluyimba, muleetenga ekitaasa, Ennanga ennungi era n'amadinda.
3Mufuuwenga ekkondeere omwezi nga kye gujje guboneke, Omwezi nga gwa ggabogabo, ku lunaku lwaffe olutukuvu olw'embaga.
4Kubanga eryo lye tteeka eri Isiraeri, Ekiragiro kya Katonda wa Yakobo.
5Yakiteeka mu Yusufu okuba obujulirwa, Bwe yabuna ensi y'e Misiri: Gye nnawuulira olulimi lwe ssaamanya.
6N'aggya ekibegabega kye ku mugugu; Engalo ze ne zisumattulwa mu bibbo.
7Wakoowoola bwe wali mu nnaku, nange ne nkuwonya; Ne nkuddiramu mu kifo eky'ekyama eky'okubwatuka: Nakukemera ku mazzi ag'e Meriba. (Seera)
8Muwulire, mmwe abantu bange, nange naabategeeza: Ggwe Isiraeri, singa okkiriza okumpulira!
9Temuubenga katonda munnaggwanga mu ggwe; So toosinzenga katonda munnaggwanga yenna.
10Nze Mukama Katonda wo, Eyakuggya mu nsi y'e Misiri: Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza.
11Naye abantu bange tebaawulira ddoboozi lyange; So Isiraeri teyanjagala n'akatono.
12Nange ne mbaleka okugoberera obukakanyavu bw'omutima gwabwe, Batambulirenga mu kuteesa kwabwe bo.
13Singa abantu bange bakkiriza okumpulira, Singa Isiraeri akkiriza okutambulira mu makubo gange!
14Nandiwangudde mangu abalabe baabwe, Nandikyusizza omukono gwange ku abo abalwana nabo.
15Abakyawa Mukama bandimujeemulukukidde: Naye ekiseera kyabwe kyandibadde kya mirembe gyonna.
16Era yandibaliisizza n'obugimu obw'eŋŋaano: Era nandikukkusizza n'omubisi gw'enjuki oguva mu jjinja.