Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
8 verses
1Katonda ayimirira mu kibiina kya Katonda; Asala emisango mu bakatonda.
2Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga, N'okusalirizanga ababi? (Seera)
3Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe: Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu.
4Muwonyenga omwavu n'oyo eyeetaaga: Mubalokolenga mu mukono gw'omubi.
5Tebamanya so tebategeera; Batambulatambula mu kizikiza: Emisingi gyonna egy'ensi gisagaasagana.
6Nayogera nti Muli bakatonda, Era mwenna muli baana b'oyo ali waggulu ennyo.
7Era naye munaafanga ng'abantu, Era munaagwanga ng'omu ku balangira.
8Golokoka, ai Katonda, osalire ensi omusango: Kubanga olisikira amawanga gonna.