Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Mukama, watunuulira ensi yo n'ekisa: Wazza obusibe bwa Yakobo.
2Wasonyiwa obutali butuukirivu obw'abantu bo, Wabikka ku kibi kyabwe kyonna. (Seera)
3Waggyawo obusungu bwo bwonna: Wakyuka n'oleka ekiruyi kyo ekikambwe:
4Otukyuse, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe. Era okunyiiga kwo kuggweewo eri ffe.
5Onootuusunguwaliranga ennaku zonna? Onootuusanga obusungu bwo emirembe gyonna?
6Tolituzuukiza nate, Abantu bo bakusanyukirenga ggwe?
7Otulage okusaasira kwo, ai Mukama, Otuwe obulokozi bwo.
8Ka mpulire Katonda Mukama by'anaayogera: Kubanga anaabuulira abantu be emirembe, n'abatukuvu be: Naye baleme okukyama nate mu busirusiru.
9Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya; Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe.
10Okusaasira n'amazima birabaganye; Obutuukirivu n'emirembe binywegeraganye.
11Amazima galose mu ttaka; N'obutuukirivu butunudde ku nsi nga buyima mu ggulu.
12Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi; N'ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo.
13Obutuukirivu bunaamukulemberanga; Era bunaakubiranga ebigere bye ekkubo.