Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Eweema zo nga nnungi, Ai Mukama ow'eggye.
2Emmeeme yange yeegomba, era ezirise olw'empya za Mukama; Omutima gwange n'omubiri gwange bikaabira Katonda omulamu.
3Weewaawo, enkazaluggya yeerabidde ennyumba, N'akataayi ekisu mwe kanaabiikiranga obwana bwako, Bye byoto byo, ai Mukama ow'eggye, Kabaka wange, era Katonda wange.
4Balina omukisa abatuula mu nnyumba yo: Banaakutenderezanga. (Seera)
5Alina omukisa omuntu amaanyi ge bwe gaba mu ggwe; Enguudo ezigenda mu Sayuuni nga ziri mu mutima gwe.
6Nga bayita mu kiwonvu eky'amaziga bakifuula ekifo eky'ensulo; Weewaawo, ddumbi akibikkako n'omukisa.
7Bava mu maanyi ne baggukira mu maanyi, Buli muntu mu bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8Ai Mukama Katonda ow'eggye, wulira okusaba kwange: Otege okutu, ai Katonda wa Yakobo. (Seera)
9Tunula, ai Katonda engabo yaffe, Olabe amaaso g'oyo gwe wafukako amafuta.
10Kubanga olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange Okusinga okutuula mu weema ez'obubi.
11Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo: Mukama anaagabanga ekisa n'ekitiibwa: Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza.
12Ai Mukama ow'eggye, Alina omukisa omuntu akwesiga ggwe.