Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
7 verses
1Emisingi gye giri ku nsozi entukuvu.
2Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni Okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
3Eby'ekitiibwa bikwogerwako, Ggwe ekibuga kya Katonda. (Seera)
4Ndyogera ku Lakabu ne Babulooni nga bali mu abo abammanyi: Laba Firisutiya, ne Ttuulo, ne Esiyoopya; Oyo Yazaalirwa omwo.
5Weewaawo, kiryogerwa ku Sayuuni nti Gundi ne gundi baazaalirwa omwo; N'oyo ali waggulu ennyo alikinyweza yennyini.
6Mukama alibala, bw'aliwandiika amawanga, Nti Gundi yazaalirwa omwo. (Seera)
7Abayimba era n'abo abazina (balyogera nti) Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.