Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Ai Mukama, Katonda ow'obulokozi bwange, Naakaabiranga emisana n'ekiro mu maaso go:
2Okusaba kwange kuyingire w'oli; Otege okutu kwo eri okukaaba kwange:
3Kubanga emmeeme yange ejjudde ennaku, N'obulamu bwange busemberera e magombe.
4Bambalira wamu n'abo abakka mu bunnya; Nninga omuntu atalina mubeezi:
5Asuulibwa mu bafu, Ali ng'abattibwa abagalamira mu ntaana, B'otojjukira nate; Era bayawukana n'omukono gwo.
6Ontadde mu bunnya obuli wansi ennyo, Mu bifo eby'enzikiza, mu buziba.
7Obusungu bwo bunyigiriza nnyo, Era ombonyabonyezza n'amayengo go gonna. (Seera)
8Onjawukanyirizza wala n'abo be mmanyi; Onfudde ekitama eri abo: Nsibiddwa, so siyinza kuvaamu.
9Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala: Nkukaabira buli lunaku, ai Mukama, Ntega engalo zange eri ggwe.
10Oliraga abafu eby'amagero? Abaafa baligolokoka balikutendereza? (Seera)
11Ekisa kyo kiribuulirirwa mu magombe? N'obwesigwa bwo mu kuzikirira?
12Eby'amagero byo birimanyirwa mu kizikiza? N'obutuukirivu bwo mu nsi ey'okwerabira?
13Naye ggwe, ai Mukama, gwe nkaabira, Era buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga mu maaso go.
14Mukama, kiki ekikusuuza emmeeme yange? Kiki ekikunkwesa amaaso go?
15Mbonyaabonyezebwa, nfaanana okufa okuva mu buto bwange: Entiisa zo bwe zimbaako, ne nneeraliikirira nnyo.
16Obusungu bwo obukambwe buntuuseeko; Entiisa zo zinzingizizza.
17Banneetooloola ng'amazzi okuzibya obudde; Bantaayiza eruuyi n'eruuyi wamu.
18Abanjagala ne mikwano gyange obaawukanyizza wala nange, N'abo be mmanyi mu kizikiza.