Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
52 verses
1Naayimbanga ku kusaasira kwa Mukama ennaku zonna: N'akamwa kange naategeezanga ab'emirembe gyonna obwesigwa bwo.
2Kubanga njogedde nti Okusaasira kunaanywezebwanga okutuusa emirembe n'emirembe; Era ne mu ggulu onoosimbanga obwesigwa bwo.
3Ndagaanye endagaano n'abalonde bange, Ndayiridde Dawudi amuddu wange;
4Ezzedde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna, N'entebe yo naagizimbiranga ddala emirembe gyonna. (Seera)
5N'eggulu linaatenderezanga eby'amagero byo, ai Mukama; Era n'obwesigwa bwo mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu.
6Kubanga ani mu ggulu gwe bayinza okugeraageranya ne Mukama? Ani ku baana b'abakulu ali nga Mukama.
7Ye Katonda atiibwa ennyo mu lukiiko olw'abatukuvu, Agwaana okutiibwa okusinga bonna abamwetooloola?
8Ai Mukama Katonda ow'eggye, Ani ow'amaanyi, afaanana nga ggwe, ai YA? N'obwesigwa bwo bukwetooloola.
9Ggwe ofuga amalala g'ennyanja: Amayengo gaayo bwe gagolokoka, ogateesa.
10Wamenyaamenya Lakabu ng'omuntu attibwa; Wasaasaanya abalabe bo n'omukono ogw'amaanyi go.
11Eggulu liryo, era n'ensi yiyo: Ebintu byonna n'okujjula kwabyo wabiteekawo.
12Obukiika obwa kkono n'obwa ddyo wabutonda: Taboli ne Kerumooni zisanyukira erinnya lyo.
13Olina omukono ogw'amaanyi: Engalo zo za maanyi, n'omukono gwo ogwa ddyo gugulumizibwa.
14Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe yo: Okusaasira n'amazima bikulembera amaaso go.
15Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery'essanyu: Ai Mukama, batambulira mu musana gw'amaaso go.
16Basanyukira erinnya lyo okuzibya obudde; Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo.
17Kubanga ggwe oli kitiibwa ky’amaanyi gaabwe: N'olw'ekisa kyo ejjembe lyaffe linaagulumizibwanga.
18Kubanga Mukama ye nannyini ngabo yaffe; Era Omutukuvu wa Isiraeri ye nannyini kabaka waffe.
19Mu biro biri wagambira abatukuvu bo mu kwolesebwa, N'oyogera nti Ntadde obuyambi ku muntu ow'amaanyi; Ngulumizizza omuntu eyalondebwa mu bantu.
20Ndabye Dawudi omuddu wange; Mmufuseeko amafuta gange amatukuvu:
21Engalo zange zinaanywezebwanga gy'ali; N'omukono gwange gunaamuwanga amaanyi.
22Omulabe taamujoogenga: Newakubadde omwana w'obubi taamubonyeebonyenga.
23Nange naasuulanga abanaalwananga naye mu maaso ge, Era naakubanga abanaamukyawanga.
24Naye obwesigwa bwange n'okusaasira kwange binaabanga naye; Ne mu linnya lyange ejjembe lye linaagulumizibwanga.
25Era naateekanga omukono gwe ku nnyanja, N'omukono gwe ogwa ddyo ku migga.
26Anankaabiranga nti Ggwe kitange, Katonda wange, era ejjinja ery'obulokozi bwange.
27Era ndimufuula omubereberye wange, Asinga bakabaka ab'ensi.
28Naamuterekeranga okusaasira kwange emirembe n'emirembe, N'endagaano yange eneenyweranga gy'ali.
29Era naawangaazanga ezzadde lye emirembe gyonna, N'entebe ye ng'ennaku ez'eggulu.
30Abaana be bwe banaalekanga amateeka gange, Ne batatambuliranga mu misango gyange;
31Bwe banaanyoomanga ebiragiro byange, Ne batakwatanga mateeka gange;
32Nange najjiranga okwonoona kwabwe n'omuggo, N'obutali butuukirivu bwabwe n'okukuba.
33Naye siimuggirengako ddala kusaasira kwange, So siiganyenga bwesigwa bwange okuweebuuka.
34Siimenyenga ndagaano yange, Sijjululenga kigambo ekyava mu mimwa gyange.
35Omulundi gumu nalayira obutuukirivu bwange; Siimulimbenga Dawudi.
36Ezzadde lye linaabeereranga emirembe gyonna, N'entebe ye ng'enjuba mu maaso gange.
37Eneenywezebwanga ennaku zonna ng'omwezi, Era ng'omujulirwa omwesigwa mu ggulu. (Seera)
38Naye wasuula n'ogoba N'osunguwalira oyo gwe wafukako amafuta.
39Wakyawa endagaano ey'omuddu wo. Wanyooma engule ye n'ogisuula wansi.
40Wamenyaamenya enkomera ze zonna; Wayabya ebigo bye.
41Bonna abayita mu kkubo bamunyaga: Afuuse ekivume eri baliraanwa be.
42Ogulumizizza omukono ogwa ddyo ogw'abalabe be; Osanyusizza abamukyaye bonna.
43Weewaawo, okyamizza obwogi bw'ekitala kye, So tomuyimirizizza mu lutalo.
44Omazeewo okumasamasa kwe, N'osuulira ddala entebe ye wansi.
45Osaze ku nnaku ez'obuvubuka bwe: Omubisseeko ensonyi. (Seera)
46Olituusa wa, ai Mukama, okwekwekanga ennaku zonna? Obusungu bwo bulituusa wa okubuubuukanga ng'omuliro?
47Ojjukire, nkwegayiridde, ekiseera kyange bwe kiri ekitono: Abaana b'abantu bonna nga wabatondera ebitaliimu!
48Omuntu aluwa aliba omulamu ataliraba kufa, Alyewonya emmeeme ye mu buyinza bw'amagombe? (Seera)
49Mukama, okusaasira kwo okw'edda kuli luuyi wa, Kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?
50Jjukira, Mukama, abaddu bo bwe bavumibwa; Bwe nsitula mu kifuba kyange ekivume eky'amawanga gonna ag'amaanyi;
51Abalabe bo kye bavuma, ai Mukama, Kye bavuma ebigere by'oyo gwe wafukako amafuta.
52Mukama yeebazibwenga emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina.