Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Mukama, ggwe wali kifo kyaffe eky'okutuulamu Mu mirembe gyonna.
2Ensozi nga tezinnazaalibwa, Era nga tonnabumba nsi n'ebintu Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.
3Osindika abantu mu kuzikirira; Era oyogera nti Muddeeyo, mmwe abaana b'abantu.
4Kubanga emyaka olukumi mu maaso go Giri ng'olwajjo olwayita, Era ng'ekisisimuka ky'ekiro.
5Obatwalira ddala nga mukoka; bali ng'otulo: Enkya bali ng'omuddo ogumera.
6Enkya guloka, gumera; Akawungeezi nga gusaliddwa, era nga guwotose.
7Kubanga obusungu bwo butumalawo, Era bw'onyiiga ne tweraliikirira.
8Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu musana gw'amaaso go, Ebibi byaffe eby'ekyama mu musana gw'amaaso go.
9Kubanga ennaku zaffe zonna ziyita mu busungu bwo; Emyaka gyaffe giggwaawo ng'ekirowoozo.
10Ennaku z'emyaka gyaffe gye myaka nsanvu, Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana; Naye amalala gaabwe kwe kutegana n'okunakuwala kwereere; Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.
11Ani amanyi obuyinza obw'obusungu bwo, N'okunyiiga nga bw'ogwanira okutiibwa?
12Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe, Tulyoke tufune omutima omugezigezi.
13Okomewo, ai Mukama; olituusa wa? Era wejjuse mu bigambo eby'abaddu bo.
14Otukkuse enkya n'okusaasira kwo; Tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna.
15Otusanyuse ng'ennaku bwe ziri ze watubonyaabonyezangamu Era ng'emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi.
16Omulimu gwo gulabikirenga abaddu bo, N'ekitiibwa kyo kirabikenga ku baana baabwe.
17Era n'obulungi bwa Mukama Katonda waffe bubeerenga ku ffe: Era otunywerezenga emirimu gy'emikono gyaffe: Weewaawo, emirimu gy'emikono gyaffe oginywezenga.