Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
16 verses
1Atuula mu kifo eky'ekyama eky'oyo ali waggulu ennyo Ye anaabeeranga wansi w'ekisiikirize eky'Omuyinza w'ebintu byonna.
2Naayogeranga ku Mukama nti Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga.
3Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego ogw'omuyizzi, Ne mu kawumpuli omubi.
4Anaakubikkangako n'ebiwaawaatiro bye, Era wansi w'ebyoya bye w'onoddukiranga: Amazima ge ye ngabo, ge gakuuma.
5Tootyenga lwa ntiisa ya kiro Newakubadde akasaale akagenda emisana;
6Olw'olumbe olutambulira mu kizikiza, Newakubadde olw'okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu.
7Abantu olukumi baligwira ku lubiriizi lwo, Era akakumi ku mukono gwo ogwa ddyo; Tekulikusemberera ggwe.
8Naye olitunula n'amaaso go, Oliraba empeera y'ababi.
9Kubanga ggwe, ai Mukama, oli kiddukiro kyange Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w'otuula;
10Tewali kabi akalikubaako, so tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo.
11Kubanga alikulagiririza bamalayika be, Bakukuume mu makubo go gonna.
12Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.
13Olirinnya ku mpologoma ne ku ssalambwa; Olisamba empologoma ento n'omusota wansi w'ebigere byo.
14Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya: Ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange.
15Alinkaabira, nange ndimuyita; Naabeeranga wamu naye bw'anaanakuwalanga: Ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa.
16Ndimuwangaaza nnyo, ndimukkusa obulamu, Era ndimulaga obulokozi bwange.