Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
15 verses
1Kirungi okwebazanga Mukama, N'okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo:
2Okwolesanga ekisa kyo enkya, N'obwesigwa bwo buli kiro.
3N'ekivuga ekirina enkoba ekkumi, era n'amadinda: N'eddoboozi ery'okusinza ery'ennanga.
4Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n'omulimu gwo: Naajagulizanga emirimu gy'emikono gyo.
5Emirimu gyo nga mikulu, ai Mukama Ebirowoozo byo bya buziba nnyo.
6Omuntu ali ng'ensolo tamanyi kino, So nga n'omusirusiru takitegeera:
7Ababi bwe baloka ng'omuddo, Era abakozi b'obubi bonna bwe beera; Kyebava beera bazikirizibwe emirembe gyonna:
8Naye ggwe, ai Mukama, ogulumizibwanga emirembe n'emirembe.
9Kubanga, laba, abalabe bo, ai Mukama, Kubanga, laba, abalabe bo balizikirira; Abakozi b'obubi bonna balisaasaanyizibwa.
10Naye ogulumizizza ejjembe lyange ng'ery'embogo: Nfukiddwako amafuta amaggya.
11Era eriiso lyange Lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange, Amatu gange gawulidde bye njagala nga bituuse ku abo abakola obubi abangolokokerako.
12Omutuukirivu alyera ng'olukindu; Alikula ng'omuvule mu Lebanooni.
13Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama Balyerera mu mpya za Katonda waffe.
14Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye; Balijjula amazzi, baligejja:
15Balage nga Mukama mutuukirivu; Oyo lye jjinja lyange, so mu ye temuli butali butuukirivu.