Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
5 verses
1Mukama afuga; ayambadde obukulu: Mukama ayambadde, yeesibye amaanyi: Era ensi enywedde n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana.
2Entebe yo yanywera edda n'edda lyonna: Obeererawo okuva emirembe n'emirembe.
3Amazzi gayimusizza, Ai Mukama, Amazzi gayimusizza eddoboozi lyago; Amazzi gayimusa amayengo gaago.
4Okusinga amaloboozi ag'amazzi amangi, Amayengo amanene ag'oku nnyanja, Mukama ali waggulu asinza amaanyi.
5Bye wategeeza bya mazima ddala: Obutukuvu busaanira ennyumba yo, Ai Mukama, emirembe n'emirembe.