Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Ai Mukama, ggwe Katonda nannyini kuwalana, Ggwe Katonda nannyini kuwalana, omasizemasize ddala.
2Weeyimuse, ggwe asalira ensi emisango: Owe ab'amalala ebibagwanira.
3Mukama, ababi balituusa wa, Ababi balituusa wa okuwangula?
4Boogera ebitaliimu n'ebyamalala, Abakozi bobubi bonna beenyumiriza.
5Bamenyaamenya abantu bo, ai Mukama, Era babonyaabonya obusika bwo.
6Batta nnamwandu ne munnaggwanga, Era batta atalina kitaawe.
7Ne boogera nti Mukama taalabe, So Katonda wa Yakobo taalowooze.
8Mulowooze, mmwe abali ng'ensolo mu bantu: Nammwe abasirusiru, muligeziwala ddi?
9Eyateekawo okutu, taliwulira? Eyabumba eriiso, taliraba?
10Abonereza amawanga, talikangavvula, Ayigiriza abantu amagezi?
11Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu, Nga mukka.
12Alina omukisa omuntu gw'obonereza, ai Mukama, Era gw'oyigiriza ebiva mu mateeka go;
13Olyoke omuwummuze aleme okulaba ebiro eby'ennaku, Okutuusa obunnya lwe bulisimirwa ababi.
14Kubanga Mukama talisuula bantu be, So talireka busika bwe.
15Kubanga omusango gulidda mu butuukirivu: Ne bonna abalina emitima egy'amazima balibugoberera.
16Ani anangolokokera ku abo abakola obubi? Ani anannyimiririra ku bakozi b'ebitali bya butuukirivu?
17Singa Mukama teyali mubeezi wange, Emmeeme yange yanditudde mangu awali okusirika.
18Bwe nnayogera nti Ekigere kyange kiseerera, Okusaasira kwo, ggwe Mukama, ne kumpanirira.
19Mu birowoozo byange ebingi ebiri mu nze Okusanyusa kwo kumpoomera emmeeme yange.
20Abafuga ababi balissa ekimu naawe, Abalagira eby'ettima mu mateeka?
21Bakuŋŋaana okulumba emmeeme y'omutuukirivu, Ne basala omusango okusinga omusaayi ogutaliiko kabi.
22Naye Mukama yabanga kigo kyange ekiwanvu; Era Katonda wange lye jjinja lye nneeyuna.
23Era abaleeseeko obutali butuukirivu bwabwe bo, Era alibazikiriza mu bubi bwabwe; Mukama Katonda waffe alibazikiriza.