Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
11 verses
1Mujje, tuyimbire Mukama: Tuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ejjinja ery'obulokozi bwaffe.
2Tujje mu maaso ge n'okwebaza, Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ne zabbuli.
3Kubanga Mukama ye Katonda omukulu, Era Kabaka omukulu asinga bakatonda bonna.
4Enkonko z'ensi ziri mu mukono gwe; N'entikko z'ensozi nazo zizze.
5Ennyanja yiye, era yagikola; N'emikono gye gye gyabumba olukalu.
6Mujje, tusinze, tuvuuname; Tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe:
7Kubanga ye Katonda waffe, Naffe tuli bantu ba ttale lye, era endiga ez'omu mukono gwe. Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye,
8Temukakanyaza mitima gyammwe, nga e Meriba, Nga ku lunaku olw'e Masa mu ddungu:
9Bajjajja bammwe bwe bankema, Ne bangeza, ne balaba omulimu gwange.
10Emyaka amakumi ana nanyiikaalira ab'emirembe giri, Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, So tebamanya makubo gange:
11Kyennava ndayira mu busungu bwange, Nga tebaliyingira mu kiwummulo kyange.