Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Muyimbire Mukama oluyimba oluggya: Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna.
2Mumuyimbire Mukama, mwebaze erinnya lye: Mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.
3Mubuulirenga ekitiibwa kye mu mawanga, Eby'amagero bye mu bantu bonna.
4Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: Agwana okutiibwanga okusinga bakatonda bonna.
5Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi: Naye Mukama ye yakola eggulu.
6Ekitiibwa n'obukulu biri mu maaso ge: Amaanyi n'obulungi biri mu watukuvu we.
7Mumuwe Mukama, mmwe ebika eby'amawanga, Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.
8Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye: Muleete ssaddaaka, mujje mu mpya ze.
9Kale mumusinze Mukama mu bulungi obw'obutukuvu. Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna.
10Mwogerere mu mawanga nti Mukama afuga: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana: Alisalira amawanga emisango egy'ensonga.
11Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze; Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo;
12Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu byonna; Emiti gyonna egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu;
13Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja; Kubanga ajja okusalira ensi emisango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'amazima ge.