Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Mukama afuga; ensi esanyuke: Ebizinga bijaguze bwe byenkana obungi.
2Ebire n'ekizikiza bimwetooloola: Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe ye.
3Omuliro gumukulembera, Gwokya abalabe be eruuyi n’eruuyi.
4Enjota ze zaamulisa ensi: Ensi n'eraba n'ekankana.
5Ensozi z'asaanuuka ng'envumbo awali Mukama, Awali Mukama w'ensi zonna.
6Eggulu libuulira obutuukirivu bwe, N'amawanga gonna galabye ekitiibwa kye.
7Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole, Abeenyumiriza olw'ebifaananyi: Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna.
8Sayuuni yawulira n'asanyuka, N'abawala ba Yuda ne bajaguza; Olw'emisango gyo, ai Mukama.
9Kubanga ggwe, Mukama, oli waggulu nnyo ku nsi zonna: Ogulumizibwa okusinga ennyo bakatonda bonna.
10Kale mmwe abaagala Mukama, mukyawe obubi: Akuuma emmeeme z'abatukuvu be; Abawonya mu mukono gw'omubi.
11Omusana gwasigirwa omutuukirivu, N'essanyu oyo alina omutima ogw'amazima.
12Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu Era mwebaze erinnya lye ettukuvu.