Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
11 verses
1Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akka okuva mu ggulu, ng'ayambadde ekire; ne musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaaso ge ng'enjuba, n'ebigere bye ng'empagi ez'omuliro;
2era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n'ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n'ekya kkono ku nsi;
3n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'empologoma bw'ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu ne byogera amaloboozi gaabyo.
4Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali nga ŋŋenda okuwandiika: ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.
5Malayika gwe nnalaba ng'ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n'ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu,
6n'alayira oli aba omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'ennyanja n'ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate:
7naye mu nnaku z'eddoboozi lya malayika ow'omusanvu, bw'aliba ng'agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng'enjiri bw'eri gye yabuulira abaddu be bannabbi.
8N'eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi.
9Ne ŋŋenda eri malayika, nga mmugamba okumpa akatabo. N'aŋŋamba nti Twala, okamire; era kanaakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa ko kanaaba kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki.
10Ne ntwala akatabo ne nkaggya mu mukono gwa malayika, ne nkamira; ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki: bwe nnakalya, olubuto lwange ne lukaayizibwa.
11Ne baŋŋamba nti Kikugwanidde okubuulira nate eri abantu n'amawanga n'ennimi ne bakabaka abangi.