Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Malayika ow'okutaano n'afuuwa, ne ndaba emmunyeenye ng'eva mu ggulu ng'egwa ku nsi: n'aweebwa ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma.
2N'asumulula obunnya obutakoma; n'omukka ne guva mu bunnya ne gulinnya ng'omukka gw'enkoomi ennene, n'enjuba n'ebbanga ne bizikizibwa olw'omukka ogw'omu bunnya.
3Ne mu mukka ne muva enzige ku nsi, ne ziweebwa obuyinza, ng'enjaba ez'obusagwa ez'omu nsi bwe zirina obuyinza.
4Ne zigambibwa obutayonoona muddo gwa nsi, newakubadde ekintu kyonna ekibisi newakubadde omuti gwonna, wabula abantu bokka abatalina kabonero ka Katonda ku byenyi byabwe.
5Ne ziweebwa obutabatta, wabula okubalumira emyezi etaano: n'okuluma kwazo kwali ng'okuluma kw'enjaba ey'obusagwa bw'eruma omuntu.
6Ne mu nnaku ezo abantu balinoonya okufa, so tebalikulaba n'akatono; era balyegomba okufa, era okufa nga kubadduka.
7N'ebifaananyi by'enzige byafaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olutalo, ne ku mitwe gyazo ng'engule ezifaanana nga zaabu, n'amaaso gaazo ng'amaaso g'abantu.
8Era zaalina enviiri ng'enviiri z'abakazi, n'amannyo gaazo gaali ng'ag'empologoma.
9Era zaalina ebizibawo ng'ebizibawo eby'ekyuma, n'edoboozi ly'ebiwaawaatiro byazo ng'eddoboozi ly'amagaali, ery'embalaasi ennyingi nga zifubutuka okuyingira mu lutalo.
10Era zirina emikira egifaanana ng'enjaba ez'obusagwa, n'emimwa; ne mu mikira gyazo mulimu obuyinza bwazo okulumira abantu emyezi etaano.
11Zirina kabaka waazo malayika ow'obunnya obutakoma: erinnya mu Lwebbulaniya Abadoni, ne mu Luyonaani alina erinnya Apoliyaani.
12Obubi obumu buyise: laba, obubi bubiri nate bujja oluvannyuma.
13Malayika ow'omukaaga n'afuuwa, ne mpulira eddoboozi eryava mu nsonda ennya ez'ekyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda,
14ng'agamba malayika ow'omukaaga eyalina akagombe nti Sumulula bamalayika abana abasibiddwa ku mugga omunene Fulaati.
15Bamalayika abana ne basumululwa abaali bategekeddwa essaawa n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu eky'okusatu eky'abantu.
16N'omuwendo gw'eggye ery'abeebagala embalaasi obukumi kakumi emirundi ebiri: ne mpulira omuwendo gwabwe.
17Era bwe nnalaba bwe nti embalaasi mu kwolesebwa kuno, n'abo abaali bazituddeko, nga bambadde eby'omu kifuba ng'eby'omuliro n'ebya kazigizigi n'eby'ekibiriiti: n'emitwe egy'embalaasi ng'emitwe gy'empologoma; ne mu bumwa bwazo ne muva omuliro n'omukka n'ekibiriiti.
18Mu bibonyoobonyo ebyo byonsatute, kwe kugamba nti omuliro n'omukka n'ekibiriiti ebyava mu bumwa bwazo, ne mufiira ekitundu eky'okusatu eky'abantu.
19Kubanga obuyinza bw'embalaasi buli mu kamwa kaazo, ne mu mikira gyazo: kubanga emikira gyazo gifaanana ng'emisota, nga girina emitwe; era gye zirumisa.
20N'abantu abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo ebyo, tebeenenya mu bikolwa by'emikono gyabwe, obutasinza balubaale, n'ebifaananyi ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ebikomo n'eby'amayinja n'eby'emiti, ebitayinza kulaba newakubadde okuwulira, newakubadde okutambula:
21ne bateenenya mu bussi bwabwe, newakubadde mu bulogo bwabwe, newakubadde mu bwenzi bwabwe, newakubadde mu bubbi bwabwe.