Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Bwe Yabembula akabonero ak'omusanvu, ne waba akasiriikiriro mu ggulu nga kitundu kya ssaawa.
2Ne ndaba bamalayika musanvu abaayimirira mu maaso ga Katonda; ne baweebwa obugombe musanvu.
3Ne malayika omulala n'ajja n'ayimirira ku kyoto, ng'alina ekyotezo ekya zaabu; n'aweebwa obubaane bungi, alyoke abuteeke mu kusaba kw'abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g'entebe.
4N'omukka gw'obubaane ne gulinnya wamu n'okusaba kw'abatukuvu nga guva mu mukono gwa malayika mu maaso ga Katonda.
5Malayika n'atwala ekyotezo; n'akijjuza omuliro ogw'omu kyoto, n'akisuula ku nsi; ne waba okubwatuka n'amaloboozi n'okumyansa n'ekikankano.
6Ne bamalayika omusanvu abalina obugombe omusanvu ne beeteekateeka okufuuwa.
7Malayika ow'olubereberye n'afuuwa, ne waba omuzira n'omuliro ebitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi: n'ekitundu eky'okusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu eky'okusatu eky'emiti ne kiggya, na buli muddo omubisi ne guggya.
8Malayika ow'okubiri n'afuuwa; ng'olusozi olunene olwaka omuliro ne lusuulibwa mu nnyanja: n'ekitundu eky'okusatu eky'ennyanja ne kifuuka musaayi;
9ne bifa ekitundu eky'okusatu eky'ebitonde eby'omu nnyanja, ebiramu, n'ekitundu eky'okusatu eky'ebyombo ne kizikirira.
10Malayika ow'okusatu n'afuuwa, emmunyeenye ennene n'eva mu ggulu n'egwa ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu eky'okusatu eky'emigga, ne ku nzizi z'amazzi.
11N'erinnya ly'emmunyeenye liyitibwa Abusinso: n'ekitundu eky'okusatu eky'amazzi ne kifuuka abusinso: n'abantu bangi ne bafa olw'amazzi, kubanga gaakaayizibwa.
12Malayika ow'okuna n'afuuwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'enjuba ne kikubibwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'omwezi, n’ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye; ekitundu eky'okusatu ekyabyo kiryoke kizikizibwe, n'omusana guleme okwaka ekitundu kyagwo eky'okusatu, n'ekiro bwe kityo.
13Ne ndaba, ne mpulira empungu emu ng'ebuuka wakati w'eggulu, ng'eyogera n'eddoboozi ddene nti Zibasanze, zibasanze, zibasanze abatuula ku nsi, olw'amaloboozi agasigaddeyo ag'akagombe ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa.