Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Ab'oluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, balokoke.
2Kubanga mbategeeza nga balina okunyiikiririra Katonda, naye si mu kutegeera.
3Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bagezaako okutereeza obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebagondera butuukirivu bwa Katonda.
4Kubanga Kristo ye nkomerero y'amateeka olw'okuweesa obutuukirivu buli akkiriza.
5Kubanga Musa awandiika obutuukirivu obuva mu mateeka nti abukola ye aliba omulamu mu bwo.
6Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwogera bwe buti nti Toyogeranga mu mutima gwo nti Ani alirinnya mu ggulu? (kwe kuleeta Kristo wansi;)
7newakubadde nti Ani alikka emagombe? (kwe kulinnyisa Kristo okuva mu bafu.)
8Naye bwogera butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naawe, mu kamwako, ne mu mutima gwo: kye kigambo eky'okukkiriza kye tubuulira:
9kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka:
10kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.
11Kubanga ebyawandiikibwa byogera nti Buli amukkiriza talikwasibwa nsonyi.
12Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani: kubanga omu ye Mukama waabwe bonna, ye mugagga eri abo bonna abamukaabirira:
13kubanga, Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka.
14Kale balikaabirira batya gwe batannakkiriza? era balikkiriza batya gwe batannawulirako? era baliwulira batya awatali abuulira?
15era balibuulira batya nga tebatumiddwa? nga bwe kyawandiikibwa nti Ebigere byabwe nga birungi nnyo ababuulira enjiri ey'ebirungi!
16Naye tebaagondera njiri bonna. Kubanga Isaaya ayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe?
17Kale okukkiriza kuva mu kuwulira, n'okuwulira mu kigambo kya Kristo.
18Naye njogera nti Tebawuliranga? Weewaawo, ddala, Eddoboozi lyabyo lyabuna mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero z'ensi.
19Naye njogera nti Isiraeri tamanyanga? Musa ye yasooka okwogera nti Ndibakwasa obuggya eri abatali ba ggwanga, Eri eggwanga eritalina magezi ndibasunguwaza.
20Era Isaaya aguma nnyo n'ayogera nti Navumbulibwa abo abatannoonyanga, Nalagibwa eri abo abatambuulirizangako.
21Naye eri Isiraeri ayogera nti Obudde okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana.