Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
36 verses
1Kale njogera nti Katonda yagoba abantu be? Kitalo. Kubanga era nange ndi Muisiraeri, wa mu zzadde lya Ibulayimu, wa mu kika Kya Benyamini.
2Katonda teyagoba bantu be, be yamanya edda. Oba temumanyi ebya Eriya ebyawandiikibwa bwe byogera? bwe yasaba Katonda ng'ayogera ku Baisiraeri nti
3Mukama, batta bannabbi bo, ne basuula ebyoto byo: nange nfisseewo nzekka, era banoonya obulamu bwange.
4Naye okuddamu kwa Katonda kumugamba kutya? Nti Nze nneefissirizzaawo abasajja kasanvu, abatafukaamiriranga Baali.
5Kale bwe kityo era ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyafikkawo mu kulonda okw'ekisa.
6Naye oba nga lwa kisa, si lwa bikolwa nate: oba nga si bwe kityo, ekisa si kisa nate.
7Kale tukole tutya? Isiraeri kye yanoonya, teyakiraba; naye abaalondebwa baakiraba, abalala ne bakakanyazibwa:
8nga bwe kyawandiikibwa nti Katonda yabawa omwoyo ogw'okubongoota, amaaso ag'obutalaba, n'amatu ag'obutawulira, okutuusa ku lunaku lwa leero.
9Era Dawudi ayogera nti Emmeeza yaabwe ebafuukire akakunizo n'ekigu, N'enkonge, n'empeera gye bali:
10Amaaso gaabwe gasiikirizibwe obutalaba, Era obakutamyenga omugongo gwabwe bulijjo.
11Kale njogera nti Kyebaava beesittala balyoke bagwe? Kitalo: naye olw'okwonoona kwabwe obulokozi kyebwava bujja eri ab'amawanga, okubakwasa obuggya.
12Naye oba ng'okwonoona kwabwe bwe bugagga bw'ensi, n'okuweebuuka kwabwe bwe bugagga bw'ab'amawanga; okutuukirira kwabwe tekusinga nnyo?
13Naye mbagamba mmwe ab'amawanga. Kale kubanga nze ndi mutume wa b'amawanga, ngulumiza okuweereza kwange:
14bwe ndiraba ekigambo kyonna kye ndikwasisa obuggya ab'omubiri gwange, ne ndokola abamu mu bo.
15Kuba oba ng'okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kiki, wabula obulamu mu bafu?
16Era ebibala ebibereberye bwe biba ebitukuvu, era n'ekitole kitukuvu: era ekikolo bwe kiba ekitukuvu, era n'amatabi matukuvu.
17Naye oba ng'amatabi agamu gaawogolebwa, naawe, eyali omuzeyituuni ogw'omu nsiko, wasimbibwa mu go, n'ogatta wamu nago ekikolo eky'obugevvu obw'omuzeyituuni;
18teweenyumiririzanga ku matabi: naye bwe weenyumirizanga, si ggwe weetisse ekikolo, naye ekikolo kye kyetisse ggwe.
19Kale onooyogera nti Amatabi kyegaava gawogolwa nze nsimbibweko.
20Weewaawo; gaawogolwa lwa butakkiriza, naawe onywedde lwa kukkiriza. Teweegulumizanga, naye tyanga:
21kuba oba nga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, era naawe talikusaasira.
22Kale laba obulungi n'obukambwe bwa Katonda: eri abaagwa, bukambwe; naye eri ggwe bulungi bwa Katonda, bw'onoobeereranga mu bulungi bwe: bw'otoobeererenga, naawe oliwogolwa.
23Era nabo, bwe bataabeererenga mu butakkiriza bwabwe balisimbwawo: kubanga Katonda ayinza okubasimbawo nate.
24Kuba oba nga ggwe wawogolwa ku muzeyituuni ogwali ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omulungi obutagoberera buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa; tebalisinga nnyo kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe bo?
25Kubanga ssaagala mmwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, mulemenga okubeera ab'amagezi mu maaso gammwe mwekka, ng'obukakanyavu bwabeera ku Baisiraeri mu kitundu, okutuusa okutuukirira kw'ab'amawanga lwe kulituuka;
26era bwe kityo Abaisiraeri bonna balirokoka: nga bwe kyawandiikibwa nti Muliva mu Sayuuni Awonya; Aliggyawo obutatya Katonda mu Yakobo:
27Era eno ye ndagaano yange eri bo, bwe ndibaggyako ebibi byabwe.
28Mu njiri, be balabe ku lwammwe: naye mu kulondebwa, baagalwa ku lwa bajjajja.
29Kubanga ebirabo n'okuyita kwa Katonda tebyejjusibwa.
30Kuba nga mmwe edda bwe mutaawulira Katonda, naye kaakati musaasiddwa olw'obutawulira bw'abo,
31bwe kityo nabo kaakati tebawulidde, olw'okusaasirwa kwammwe kaakati nabo balyoke basaasirwe.
32Kubanga Katonda yasiba bonna mu butawulira, alyoke asaasire bonna.
33Obuziba bw'obugagga obw'amagezi n'obw'okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n'amakubo ge nga tegekkaanyizika!
34Kubanga ani eyali amanye ebirowoozo bya Mukama? oba ani eyali amuwadde amagezi?
35oba ani eyali asoose okumuwa ekintu, era aliddizibwa nate?
36Kubanga byonna biva gy'ali, era biyita gy'ali, era bituuka gy'ali. Ekitiibwa kibeerenga gy'ali emirembe gyonna Amiina.