Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira: kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi.
2So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu.
3Kubanga njogera, olw'ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza.
4Kubanga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu:
5bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka.
6Era bwe tulina ebitenkanankana ng'ekisa kye twawebwa bwe kiri, oba bunabbi (tubuulirenga) mu kigera ky'okukiriza kwaffe;
7oba kuweereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe;
8oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe; oba abuulirira, mu kubuulirira kwe: agaba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; asaasira asaasirenga n'essanyu.
9Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, mwegattenga n'obulungi.
10Mu kwagala kw'ab'oluganda mwagalanenga mwekka ne mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne;
11mu kunyiikira si bagayaavu; abasanyufu mu mwoyo; nga mubeeranga baddu ba Mukama waffe;
12musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba;
13mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi.
14Musabirenga ababayigganya; musabirenga, so temukolimanga.
15Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba.
16Mulowoozenga bumu mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mugendenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka.
17Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna.
18Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna.
19Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.
20Naye omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, munywesenga kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.
21Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi.