Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Buli muntu awulirenga abakulu abafuga: kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n'abakulu abaliwo baalagirwa Katonda.
2Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda: era abawakana balyezzaako omusango bo bokka.
3Kubanga abafuga si ba kutiisa mu kikolwa ekirungi, wabula mu kibi: Era oyagala obutatya bukulu? kola bulungi, alikusiima:
4kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga takwatira kitala bwereere: kubanga ye muweereza wa Katonda, awalana obusungu ku oyo akola obubi.
5Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa busungu bwokka, naye era ku lw'omwoyo gwammwe.
6Era kyemuva muwa omusolo; kubanga be baweereza ba Katonda, nga banyiikirira mu mulimu ogwo.
7Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; ab'ekitiibwa kitiibwa.
8Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga: kubanga ayagala muntu munne, ng'atuukirizza amateeka.
9Kubanga kino nti Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga, n'etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.
10Okwagala tekukola bubi muntu munne: okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.
11Era mukolenga bwe mutyo, kubanga mumanyi ebiro, ng'obudde butuuse kaakano mmwe okuzuukuka mu tulo: kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga bwe twakkiriza.
12Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya: kale twambule ebikolwa eby'ekizikiza, era twambale eby'okulwanyisa eby'omusana.
13Tutambulenga nga tuwoomye nga mu musana, si mu binyumu ne mu mbaga ez'okutamiiranga, si mu bwenzi n'obukaba, si mu kuyombanga n'obuggya.
14Naye mwambale Mukama waffe Yesu Kristo, so temutegekeranga mubiri, olw'okwegomba.