Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Kyova olema okubeera n'eky'okuwoza, ggwe buli muntu anenya: kubanga ky'onenya munno, weenenyeza ddala wekka; kubanga ggwe anenya okola ebyo.
2Era tumanyi ng'okunenya kwa Katonda nga kwa mazima ku abo abakola bwe batyo.
3Ggwe omuntu, anenya abakola bwe batyo naawe n'okola ebyo, olowooza ng'olirokoka mu kunenya kwa Katonda?
4Oba onyoomye obugagga bw'obulungi bwe n'obuwombeefu n'okugumiikiriza, nga tomanyi ng'obulungi bwa Katonda bukuleeta mu kwenenya?
5Naye nga bw'olina obukakanyavu n'omutima oguteenenya, weeterekera obusungu obuliba ku lunaku olw'obusungu omusango ogw'ensonga gwa Katonda kwe gulibikkukira;
6alisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe byali:
7abanoonya ekitiibwa n'ettendo n'obutaggwaawo mu kugumiikiriza nga bakola bulungi alibasasula obulamu obutaggwaawo:
8naye ku abo abayomba n'abatawulira mazima, naye bawulira obutali butuukirivu kulibeera obusungu n'obukambwe,
9okubonyaabonyezebwa n'okulumizibwa ku buli bulamu bw'omuntu akola obubi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani:
10naye ekitiibwa n'ettendo n'emirembe ku buli akola obulungi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani:
11kubanga Katonda tasosola mu bantu.
12Kubanga bonna abaayonoonanga awatali mateeka, era balibula awatali mateeka: era bonna abaayonoonanga nga balina amateeka, balisalirwa omusango n'amateeka;
13kubanga abawulira obuwulizi amateeka si be batuukirivu eri Katonda, naye abakola eby'amateeka be baliweebwa obutuukirivu
14kubanga ab'amawanga abatalina mateeka bwe bakola mu buzaaliranwa eby'amateeka, abo, bwe bataba na mateeka, beebeerera amateeka bokka:
15kubanga balaga omulimu gw'amateeka nga gwawandiikibwa mu mitima gyabwe, omwoyo gwabwe nga gutegeeza wamu, n’ebirowoozo byabwe nga biroopagana oba nga biwozagana byokka na byokka;
16ku lunaku Katonda kw'alisalira omusango gw'ebyama by'abantu ng'enjiri yange bw'eri, ku bwa Yesu Kristo.
17Naye ggwe bw'oyitibwa Omuyudaaya, ne weesigama ku mateeka ne weenyumiririza mu Katonda
18n'omanya by'ayagala, n'osiima ebisinga obulungi, ng'oyigirizibwa mu mateeka,
19ne weetegeera ggwe okubeera omusaale w'abazibe b'amaaso, omusana gw'abali mu kizikiza,
20omulagirizi w'abatalina magezi, omuyigiriza w'abaana abato ng'olina ekyokulabirako eky'amagezi n'eky'amazima mu mateeka
21kale ggwe ayigiriza omulala teweeyigiriza wekka? abuulira obutabbanga, obba?
22ayogera obutayendanga, oyenda? akyawa ebifaananyi, obba eby'omu biggwa?
23eyeenyumiririza mu mateeka olw'okusobya amateeka oswaza Katonda?
24Kubanga erinnya lya Katonda livvoolebwa mu b'amawanga ku lwammwe, nga bwe kyawandiikibwa.
25Kubanga okukomolebwa kugasa bw’okwata amateeka: naye bw’oba omusobya w'amateeka okukomolebwa kwo kufuuse butakomolebwa.
26Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu mateeka, obutakomolebwa bwe tebulibalibwa kuba kukomolebwa?
27era atali mukomole mu buzaaliranwa, bw'atuukiriza amateeka, talikusalira musango ggwe, omusobya w'amateeka, ng'olina ennukuta n'okukomolebwa?
28Kubanga Omuyudaaya ow'okungulu si ye Muyudaaya; so n'okukomolebwa kw'omubiri okw'okungulu si kwe kukomolebwa:
29naye Omuyudaaya ow'omunda ye Muyudaaya; n’okukomolebwa kwe kw'omutima, mu mwoyo, si mu nnukuta; atatenderezebwa bantu, wabula Katonda.