Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Kale Omuyudaaya asinga atya? oba n'okukomolebwa kugasa ki?
2Kugasa nnyo mu bigambo byonna: eky'olubereberye kubanga baateresebwa Katonda bye yayogera.
3Kubanga kiba ki abamu bwe bataba na kukkiriza, obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda?
4Kitalo: nedda, Katonda abeerenga wa mazima, naye buli muntu abeerenga mulimba; nga bwe kyawandiikibwa nti Obeere n'obutuukirivu mu bigambo byo, Osinge bw'osalirwa omusango.
5Naye obutali butuukirivu bwaffe bwe butenderezesa obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera tutya? Katonda talina butuukirivu aleeta obusungu? (Njogera mu buntu.)
6Kitalo: kubanga, (bwe kiba bwe kityo), Katonda alisalira atya ensi omusango?
7Naye amazima ga Katonda bwe geeyongera okulabika olw'obulimba bwange ye n'aweebwa ekitiibwa, nze kiki ekinsaliza omusango nate ng'omwonoonyi
8era kiki ekitulobera okwogera (nga bwe tuwaayirizibwa, era ng'abamu bwe boogera nti tugamba) nti Tukolenga ebibi, ebirungi biryoke bijje? abo okusalirwa omusango kwa nsonga.
9Kale kiki? ffe zisanze okusinga bo? Nedda n'akatono: kubanga tusoose okuwawaabira Abayudaaya era n'Abayonaani nti bonna bafugibwa kibi;
10nga bwe kyawandiikibwa nti Tewali mutuukirivu n'omu;
11Tewali ategeera, Tewali anoonya Katonda;
12Bonna baakyama, baafuuka batasaana wamu; Tewali akola obulungi, tewali n'omu;
13Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Balimba n'ennimi zaabwe; Obusagwa bw'embalasaasa buli wansi w'emimwa gyabwe:
14Akamwa kaabwe kajjudde okukolima n'okukaawa:
15Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi;
16Okuzikirira n'obunaku biri mu makubo gaabwe;
17So tebamanyanga kkubo lya mirembe:
18Tewali kutya Katonda mu maaso gaabwe.
19Naye tumanyi nga byonna amateeka bye googera, gagamba abo abalina amateeka; buli kamwa konna kazibibwe, n'ensi zonna zibeereko omusango eri Katonda:
20kubanga olw'ebikolwa by'amateeka alina omubiri yenna taliweebwa butuukirivu mu maaso ge: kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi.
21Naye kaakano awatali mateeka obutuukirivu bwa Katonda, obutegeezebwa amateeka ne bannabbi, bulabisibwa;
22bwe butuukirivu bwa Katonda olw'okukkiriza Yesu Kristo eri bonna abakkiriza; kubanga tewali njawulo;
23kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda;
24naye baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kisa kye olw'okununulibwa okuli mu Kristo Yesu:
25Katonda gwe yassaawo okuba omutango, olw'okukkiriza omusaayi gwe, okulaga obutuukirivu bwe, olw'okuleka ebibi ebyakolebwanga edda, Katonda ng'agumiikiriza;
26okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino: alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu akkiriza Yesu.
27Kale okwenyumiriza kuli luuyi wa? Kwaziyizibwa. Kwaziyizibwa n'amateeka gafaanana gatya? ga bikolwa? Nedda: naye n'amateeka ga kukkiriza.
28Kyetuva tubala ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza awatali bikolwa bya mu mateeka.
29Oba Katonda, Katonda wa Bayudaaya? era si Katonda wa bamawanga? Weewaawo, era wa ba mawanga:
30oba nga Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza.
31Kale amateeka tugaggyawo olw'okukkiriza? Kitalo: nedda, tuganyweza bunyweza.