Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Kale kiki kye tunaayogera Ibulayimu jjajjaffe mu mubiri kye yalaba.
2Kubanga Ibulayimu singa yaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa, singa alina ekimwenyumirizisa; naye talina mu maaso ga Katonda.
3Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu.
4Kale, omukozi empeera ye temubalirwa lwa kisa, naye ng'ebbanja.
5Naye atakola, kyokka n'akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu.
6Era nga Dawudi bw'ayogera omukisa gw'omuntu, Katonda gw'abalira obutuukirivu awatali bikolwa, nti
7Baweereddwa omukisa abaggibwako ebyonoono byabwe, Ebibi byabwe byabikkibwako.
8Aweereddwa omukisa omuntu Mukama gw'atalibalira kibi.
9Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bokka, oba nantiki ku abo abatali bakomole? Kubanga tugambye nti okukkiriza kwe kwabalirwa Ibulayimu okuba obutuukirivu.
10Kale kwabalwa kutya? bwe yali ng'akomoleddwa, nantiki bwe yali nga tannakomolebwa? si bwe yali ng'akomoleddwa, naye nga tannakomolebwa:
11n'aweebwa ekyokulabirako eky'okukomolebwa, akabonero k'obutuukirivu obw'okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa: alyoke abeerenga jjajjaabwe bonna abakkiriza nga si bakomole, babalirwenga obutuukirivu;
12era ne jjajja w'abakomole, so si w'abo abakomole obukomozi, naye, abatambulira mu bigere by'okukkiriza kwa jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.
13Kubanga okusuubiza tekwaweerwa Ibulayimu newakubadde ezzadde lye mu mateeka, nti alibeera musika wa nsi zonna, wabula mu butuukirivu obw'okukkiriza.
14Kubanga ab'omu mateeka singa be basika, okukkiriza singa kudibye, era n'okusuubiza singa kuggiddwawo:
15kubanga amateeka galeeta obusungu; naye awatali mateeka, era tewabaawo kwonoona.
16Kyekuva kuva mu kukkiriza, kulyoke kubeerenga kwa kisa, okusuubiza kulyoke kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna
17(nga bwe kyawandiikibwa nti Nkufudde jjajja w'amawanga amangi) mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ng'ebiriwo.
18Eyakkiriza mu ssuubi awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti Ezzadde lyo liriba bwe lityo.
19N'atanafuwa mu kukkiriza bwe yalowooza omubiri gwe ye nga gufudde (nga yaakamala emyaka nga kikumi), n'olubuto lwa Saala nga lufudde:
20naye mu kusuubiza kwa Katonda teyabuusabuusa mu butakkiriza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda,
21era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola.
22Era kyekwava kumubalirwa okuba obutuukirivu.
23Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti kwamubalirwa;
24naye era ne ku lwaffe, abagenda okubalirwa, abakkiriza oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu,
25eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu.