Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tubeerenga n'emirembe eri Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo,
2era eyatuweesa olw'okukkiriza okutuuka mu kisa kino kye tuyimiriddemu; era twenyumirizenga olw'okusuubira ekitiibwa kya Katonda.
3So si ekyo kyokka, era naye twenyumirizenga mu kubonaabona kwaffe, nga tumanyi ng'okubonaabona kuleeta okugumiikiriza;
4nate okugumiikiriza kuleeta okukemebwa nate okukemebwa kuleeta okusuubira:
5nate okusuubira tekukwasa nsonyi, kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa ddala mu mitima gyaffe, ku bw'Omwoyo Omutukuvu gwe twaweebwa.
6Kubanga bwe twali nga tukyali banafu, mu ntuuko ze Kristo yafiirira abatatya Katonda.
7Kubanga kizibu omuntu okufiirira omutuukirivu; kubanga omulungi mpozzi omuntu aguma n'okumufiirira.
8Naye Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira.
9Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olw'omusaayi gwe, tugenda kulokoka mu busungu ku bubwe.
10Kuba obanga bwe twali tukyali balabe, twatabaganyizibwa ne Katonda olw'okufa kw'Omwana we, okusinga ennyo bwe twatabaganyizibwa tulirokoka olw'obulamu bwe;
11so si ekyo kyokka, era naye nga twenyumiririza mu Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, atuweesezza kaakano okutabagana.
12Olw'ebyo, nga ku bw'omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw'ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona:
13kubanga okutuusa ku mateeka ekibi kyali mu nsi: naye ekibi tekibalibwa, awataba mateeka.
14Naye okufa kwafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, era ne ku abo abataasobya ng'engeri ey'okwonoona kwa Adamu, ye kye kifaananyi ky'oyo agenda okujja.
15Naye ng'okwonoona kuli bwe kwali, era n'ekirabo tekyali bwe kityo. Kuba obanga olw'okwonoona kw'omu abaafa bangi, okusinga ennyo ekisa kya Katonda n'ekirabo olw'ekisa ky'omuntu oli omu Yesu Kristo kyasukkirira okubuna abangi.
16Era nga bwe kwajja ku bw'omu eyayonoona, ekirabo tekyali bwe kityo: kubanga omusango gwava ku omu okusinga, naye ekirabo ne kiva mu byonoono ebingi okuweesa obutuukirivu.
17Kuba obanga olw'okwonoona kw'omu okufa kwafuga ku bw'omu, okusinga ennyo abo abaweebwa ekisa ekisukkirivu n'ekirabo eky'obutuukirivu balifugira mu bulamu ku bw'oyo omu Yesu Kristo.
18Kale bwe kityo ng'olw'okwonoona kw'omu omusango bwe gwasinga abantu bonna bwe kityo n'olw'obutuukirivu bw'omu ekirabo kyali ku bantu bonna okuweesa obutuukirivu bw'obulamu.
19Kuba ng'olw'obutawulira bw'omuntu omu oli abangi bwe baafuuka ka ababi, bwe kityo n'olw'okuwulira kw'oyo omu abangi balifuuka abatuukirivu.
20Era n'amateeka ne gayingira, okwonoona kusukkirire; naye ekibi bwe kyasukkirira ekisa ne kisinga okusukkirira
21ng'ekibi bwe kyafugira mu kufa era n'ekisa bwe kityo kiryoke kifuge olw'obutuukirivu okuweesa obulamu obutaggwaawo, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe.