Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Ebigere byo nga birungi mu ngatto, ggwe omwana w'omulangira! Ennyingo z'ebisambi byo ziri ng'eby'obuyonjo, Omulimu ogw'emikono gy'omukozi omukabakaba.
2Ekkundi lyo kikompe kyekulungirivu, Omutabuze mwenge gwonna ogutabulwa: Olubuto lwo ntuumu ya ŋŋaano Eyonjebwa n'amalanga.
3Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri Abaana b'empeewo.
4Ensingo yo eri ng'ekigo eky'amasanga; Amaaso go gali nga ebidiba ebiri mu Kesuboni, awali omulyango ogw'e Basulabbimu: Ennyindo yo eri ng'ekigo eky'oku Lebanooni Ekyolekera Ddamasiko.
5Omutwe gwo guli ku ggwe nga Kalumeeri, N'enviiri ez'oku mutwe gwo ng'olugoye olw'effulungu; Kabaka emibumbo gyazo gimusiba.
6Ng'oli mulungi, ng'owoomerera, Ai gwe njagala, olw'okusanyusa!
7Obuwanvu bwo buno buli ng'olukindu, N'amabeere go ng'ebirimba by'ezabbibu.
8Nayogera nti Naalinya mu lukindu olwo, Naakwata amatabi gaalwo: Amabeere go gabe ng'ebirimba eby'oku muzabbibu, N'akawoowo k'omukka gwo ng'amacungwa;
9N'akamwa ko ng'omwenge ogusinga obulungi, Ogumirwa obulungi oyo gwe njagala, nga guseeyeeya, Nga guyita mu mimwa gy'abo abeebase.
10Nze ndi wa muganzi wange, N'okwegomba kwe kuli eri nze.
11Jjangu, muganzi wange, tufulume mu nsiko; Tusule mu byalo.
12Tugende mu nsuku z'emizabbibu mu makya; Tulabe omuzabbibu oba nga gunulisizza, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza: Naakuweera eyo okwagala kwange.
13Amadudayimu gawunya kaloosa, Ne ku nzigi zaffe waliwo ebibala eby'omuwendo omungi eby'engeri zonna, ebiggya n'ebikadde, Bye nkuterekedde, ai muganzi wange.