Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Singa obadde nga muganda wange, Eyayonka amabeere ga mmange Bwe nnandikulabye ebweru, nandikunywegedde; Weewaawo, so tewandibaddewo eyandinnyoomye.
2Nandikulese ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, Eyandinjigirizza; Nandikunywesezza omwenge ogutabuddwamu eby'akaloosa, Ku mazzi g'ekkomamawanga lyange.
3Omukono gwe ogwa kkono gwandibadde wansi w'omutwe gw'ange, N'omukono gwe ogwa ddyo gwandimpambaatidde.
4Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira.
5Mukazi ki ono ajja ng'alinnya okuva mu ddungu, Nga yeesigama ku muganzi we? Nakuzukusa wansi w'omucungwa: Eyo nnyoko gye yalumirwa okukuzaala, Eyo gye yalumirwa oyo eyakuzaala.
6Nteeka ku mutima gwo ng'akabonero, ku mukono gwo ng'akabonero: Kubanga okwagala kwenkana okufa amaanyi; Obuggya bwenkana amagombe obukambwe: Okumyansa kwabwo kumyansa kwa muliro, Okwokya kwennyini okwa Mukama.
7Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala, So n'ebitaba tebiyinza kukutta: Omuntu bw'akkiriza okuwaayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye olw'okwagala, Yandinyoomereddwa ddala.
8Tulina mwannyinaffe omuto, Era tannaba na mabeere: Tulimukola tutya mwannyinaffe Ku lunaku lwe balimwogererezaako?
9Oba nga bbugwe, Tulimuzimbako ekigo kya ffeeza, Era oba nga luggi, Tulimubikkako embaawo ez'emivule.
10Ndi bbugwe, n'amabeere gange gali ng'ebigo byako: Ne ndyoka mbeera mu maaso ge ng'omuntu alabye emirembe.
11Sulemaani yalina olusuku lw'emizabbibu e Baalukamooni; Yasigira olusuku abalimi; Olw'ebibala byamu buli muntu yasalirwa ebitundu ebya ffeeza lukumi.
12Olusuku lwange olw'emizabbibu, olwange, luli mu maaso gange; Ggwe, Sulemaani, onoobanga n'olukumi olwo, N'abo abakuuma ebibala byamu bikumi bibiri.
13Ggwe abeera mu nnimiro, Banno bawuliriza eddoboozi lyo: Limpulize.
14Yanguwa, muganzi wange, Obeere ng'empeewo oba ennangaazi ento Ku nsozi ez'eby'akaloosa.